TOP

Ssaabasajja asiimye n'afuna densite

By Lilian Nalubega

Added 29th August 2019

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II leero asiimye n'akwasibwa densite ye ab'ekitongole kya NIRA mu Lubiri lwe e Bbanda

Ndagamuntuwebuse 703x422

Kabaka Mutebi ng'akwasibwa densite ye mu Lubiri lwe e Bbanda

Bya Lilian Nalubega

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olunaku lw'eggulo abakungu b'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa n'okugaba densite mu ggwanga ekya NIRA bagenze mu Lubiri lwe e Bbanda ne yeewandiisa era n'aweebwa densite.

Kabaka densite emukwasiddwa kaminsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu ggwanga, Col. Moses Mwesigwa owa NIRA.

 saabasajja ngateeka omukono ku biwandiiko bya  okulaga nti densite gyafunye ye yiye Ssaabasajja ng'ateeka omukono ku biwandiiko bya NIRA okulaga nti densite gy'afunye ye yiye

 

Ng’enteekateeka bw'eba, Ssaabasajja yasooka kujjuza foomu ezisaba okufuna densite n'akubwa ekifaananyi n'okuteeka ekinkumu kye mu kyuma n'oluvannyuma nga bino yabikolera mu Lubiri lwe e Mmengo emabegako okutuusa lwe yasiimye n'emukwasibwa.

Abamu ku beetabye ku mukolo guno okwabadde omumyuka wa Meeya w'e Lubaga, omulangira Asuman Ntale yategeezezza nti, Kabaka ekifaananyi kyamukubirwa Mmengo ng’eno y'ensonga lwaki abakungu ba Lubaga Division baakiikiriddwa ku mukolo guno ogwabadde mu Lubiri e Mmengo.

Abalala abaabadde ku mukolo guno ye, muwandiisi wa Kabaka D.D. Mukiibi, David Ntege David n'abakungu ba NIRA.

 saabasajja nabakungu ba  mu ubiri lwe e banda Ssaabasajja n'abakungu ba NIRA mu Lubiri lwe e Bbanda

 

Mwesigwa nga yaakamala okukwasa Kabaka Mutebi densite yategeezezza nti, yali yaggwa dda nga yakolebwako mu nnaku bbiri era ne yeebaza Kabaka olw'okusiima ne bagimukwasa.

Yagambye nti, ekikolwa kya Kabaka okufuna densite kyakuwa abantu abalala okuyiga n'okwekubiriza okuzifuna awatali kwekwasa nsonga ndala yonna era n'abakubiriza naddala abatannazifuna okutwala Kabaka nga eky'okulabirako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono