TOP

Ebyabadde ku mazaalibwa ga Bukedde aga 25

By Kizito Musoke

Added 30th August 2019

Bukedde ajaguzza emyaka 25 ku mukolo ogw’ekitiibwa ogw’okwebaza Katonda wakati mu nnyimba ezitendereza omutonzi gattako obubaka obuwa essuubi okuva e Mmengo, mu Gavumenti eyawakati n’abeebitiibwa abalala.

Buk1 703x422

Bp. Ssinabulya ng’alaga mukyala we Edith bwe bakuumaganye emyaka 60 mu bufumbo Obutukuvu.

Bya KIZITO MUSOKE, MARGRET ZALWANGO ne LAWRENCE KIZITO

Bukedde ajaguzza emyaka 25 ku mukolo ogw’ekitiibwa ogw’okwebaza Katonda wakati mu nnyimba ezitendereza omutonzi gattako obubaka obuwa essuubi okuva e Mmengo, mu Gavumenti eyawakati n’abeebitiibwa abalala.

Katikkiro wa Buganda yakiikiriddwa eyawummula Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere eyaliwo nga Bukedde atandika era yakubiddwa nnyo enduulu ng’anyumya olugendo lwa Bukedde lwe yayise olupapula lwa Buganda, olupapula lwa Mmengo era olupapula lwa Ssaabasajja.

We yayogeredde nga Minisita wa Kampala, Beti Kamya yaakamala okwogera ku lupapula luno naye mwe yamala ekiseera ng’awandiika.

 

N’agamba: Bukedde bw’okola ekirungi akiraga ate bw’okola ekibi nakyo akiraga. Bukedde tawalana alaga kikoleddwa.

“Olumu nasamwassamwa n’ebigambo, Bukedde n’anzigalawo obutalabikirako wantu wonna. Abantu ne balowooza nti sikyali mu nsi okutuusa lwe nasituka ne neetonda. Kyokka Bukedde y’omu mu 2006 nga ndi mubaka wa palamenti yannonda ne New Vision ng’omubaka asinze okuweereza abantu”, bwe yategeezezza abantu abangi ku mukolo ogwabadde ku kitebe kya Vision Group efulumya Bukedde eggulo.

Omukolo gwe gumu Bukedde Ttivvi yajaguzza emyaka 10 ate Bukedde Fa-Ma Embuutikizi n’ejaguza emyaka 11.

Entikko y’omukolo kwabadde kusala obwaguuga bwa keeki eyakoleddwa ng’efaanana empapula z’amawulire.

 

Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula Dr. George Sinabulya, Mulwanyammuli, abakulira Vision Group okuli omumyuka wa Managing Director Gervase Ndyanabo n’omukungaanya ow’oku ntikko Barbara Kaija baasaze keeki n’egabulwa.

Omukolo gwatandise n’ebivuga by’ekinnansi n’amazina ebyakoleddwa Dance & Beats ate okusaba nga kutandise olwo aba Golden Gate Choir nabo abanaatera okujaguza emyaka 50 ne bayimba ennyimba ezitendereza omutonzi.

Aba Kibuye Echoes Choir be baayimbye mu kusaba nga bakira batabula ennyimba z’omu bitabo n’enjiiye.

Entikko y’essanyu yatuukiddwaako abayizi ba Buddo SS bwe bazze ku siteegi okuyimba oluyimba lwa Bukedde okuweza emyaka 25. Baalombozze ebigambo ebiggyayo ebibaddewo mu myaka egyo wakati mu mazina ate ne boogera n’emboozi ez’amaanyiezibeera mu Bukedde buli lunaku n’ebiweerezebwa ku Bukedde Fa-Ma ne ku Ttivvi wakati mu bantu bakira abasaakaanya.

 

Oluyimba luno lwawandiikiddwa Paul Ssaaka ne lutendekebwa Moses Muwanguzi. Eyali Pulezidenti wa FuFA Dr. Lawrence Mulindwa, Minisita w’e Mmengo ow’Ebyemizannyo Henry Sekabembe, Ssentebe wa LC5 e Wakiso Matiya Bwanika, Omubaka Emmanuel Ssempala, Pulezidenti wa Mother’s Union e Namirembe Josephine Kasaato, Dr. Sarah Nkonge, abakulira obutale n’aba takisi bonna baabaddewo ku mukolo guno.

Loodimeeya wa Kampala, Erias Lukwago yalese emirimu gy’okulayiza enkiiko z’ebyettaka mu buli munisipaali n’asooka ajja okujagulizaako Bukedde n’asiima nnyo ebiwandiikibwa

naddala emiko gya ‘Ono ye Kampala’ n’Ebyemizannyo ebiggyayo ettutumu lya ttiimu ya KCCA. Dr. Sinabulya eyabadde ne mukyala we Edith yasiimye Bukedde olw’amawulire agakubiriza abantu okukola, okwanika mu lupapula ne ku ttivvi ebintu ebikyamu ate n’okuyigiriza ebyobulimi, eddagala erijjanjaba n’ebirala.

 

Abakozi yabakuutidde okubeera abeesigwa ate abavumu. Yayogedde ku bakozi n’anokolayo abaweereza naddala ku Ttivvi nga Siraje Kizito ne Dorah Naamala abaweereza “Ekyenkya”, Innocent Tegusulwa owa “Toli Mwavu” gwe yagambye nti asomesezza eggwanga n’akatagga.

Okusaba kwakulembeddwa Rev. Abraham Lubega Kisakye akulira okusomesa abaawule mu bulabirizi bw’e Namirembe.

Abantu abenjawulo baasabye okuli Samuel Kasirye eyasabidde eggwanga, Barbara Kaija yasabidde Vision Group, Augustine Tamale eyasabidde amaka, Josephine Kasaato n’asabira ekkanisa ate omubuulizi Lasto Mukiibi n’asabira abantu bonna.

 

EMIKUTU GYA BUKEDDE GYE GISINGA AMAANYI

Ndyanabo yagambye nti emikutu gya Bukedde gyonna ng’ogigasse gye gisinga amaanyi wonna mu ggwanga.

N’asiima nnyo abakozi ba Bukedde okuva ku mukuhhaanya eyasooka, Maurice Sekawunguolw’okwagala omulimu n’awa ekyokulabirako nti ku mbaga ya Kabaka mu 1999 baasalawo okusula ku mulimu nga bakola basobole okufulumya amawulire ga Beene.

Mulwanyammuli Ssemwogerere yasiimye Bukedde n’agattako nti Robert Kabushenga akulira Vision Group naye akoze bulungi Obuganda ne Uganda.

“Wadde ng’erinnya lya Kabushenga liva ku ludda lulala kyokka ebiva e Mmengo tabisudde bbali mu katabo ka Bukedde. Ntambudde ne Bukedde okuva nga naakafuna obwa Katikkiro mu 1993 era ne nkwasibwa Ddamula mu 1994 ne Bukedde we yatandkira era ebbanga lyonna nga tutambulira wamu,” bwe yagambye.

Bukedde engeri gy’eyagala Obwakabaka, yagambye nti abantu baatuuka n’okulowooza nti lupapula lwa Mmengo. Yagambye nti ensobi zikolebwa kyokka Bukedde bw’akola ensobi yeetonda era waaliwo akaseera akaali akazibu, Kabushenga yajja ne yeetonda kubanga yakkirizza ensobi ye.

 

“Entalo zonna tuzirwanye ne Bukedde okuva ku ttaka, Federo, Kampala okubeera mu Buganda , n’ebirala bingi tubiyiseemu ne Bukedde “Ttiimu ya Bukedde yatambula nange buli wamu ng’oyinza okulowooza bakozi b’ofiisi ya Katikkiro.

Kyokka mu byonna siyinza kwerabira mulimu gwe baakola nga tutegeka embaga ya Kabaka. Mu Kinyegenyege, ekyaliwo Bukedde yayongeramu ssupu olwo nange omulimu ne gunyanguyira” bwe yagambye.

Bukedde teyakoma awo yafulumya embaga ya Kabaka n’akatabo akenjawulo ‘magazine” era ne katunda nnyo. Yasiimye amawulire agayigiriza, agasomesa, agatuuka ku buli kitundu, agatumbudde embeera z’abantu.

“Mwebale kukola okunoonyereza ku nsonga ez’enjawulo ze muwa abantu ku mikutu gyonna ate ne mugateeka ne ku mutimbagano ensi yonna n’egafuna. Twagala omukwano ogwo gwe mulina wakati wammwe ne Buganda mugukuume mukulaakulane emyaka gyonna.”

Beti Kamya yagambye nti Bukedde erina obwangu era nga ye yasoose okufulumya ku ttivvi eggulire ly’okulondebwa kwa Ssaabalabirizi omuggya Stephen Kazimba Mugalu nga yaakalangirirwa. “Bukedde tawalana, bw’okola ebirungi ekuwaana era n’ebiraga abantu, kyokka bw’okola ebikyamu era ebiraga abantu mu ngeri gye bibeera bibaddemu.

Omulimu gwa bannamawulire tegusaana kuyisibwamu maaso kubanga batereeza ebintu bingi,” bwe yagambye. Ku lwa Gavumenti, yasiimye Bukedde okubuulirira abantu wadde ng’oluusi bibeera bikoona Gavumenti kyokka wadde Gavumenti erulinamu emigabo teyeeyingiza mu mirimu gya Bukedde ne New Vision.

Gavumenti yeebazibwa okussaawo embeera esobozesezza bannamawulire okukola emirimu gyabwe.

 LWAKI BUKEDDE YEEBAZA?

Geoffrey Kulubya, omukuh­hanya wa Bukedde yagambye nti mu kiseera kino Bukedde lwe lupapula olusinga zonna mu Uganda okusomebwa n’okutunda.

Bukedde yeebaza olw’ekisa kya Katonda ekibaddewo mu kuwa ebirowoozo ebipya mwaka ku mwaka.

Okutambuza amawulire nga bizinensi okumala emyaka 25 buwanguzi bunene. Bizinensi nny­ingi mu Uganda ziggalawo nga zaakatandika.

Okutandika Bukedde Ttivvi ne leediyo Bukedde Fa-Ma Em­buutikizi okusobola okwongera abantu eddoboozi okuggusa ensonga zaabwe.

Obuwanguzi bwa Bukedde, buwanguzi bwa Munnayuganda okuyisaamu eddoboozi lye n’awulirwa.

Obuwanguzi bwa Bukedde yabwogeddeko ng’obw’olulimi Oluganda n’ennimi ennansi era nga bubadde buwanguzi bwa bizinensi z’abantu baffe.

BANNADDIINI BYE BAGAMBA

Rev. Fr. Denis Ssebunnya Kizito eyakiikiridde Eklezia Katolika yakuutidde abakozi bulijjo okusi­gala ku nnono z’amawulire nga bawabdiika amawulire amatuufu, agalimu obwenkanya, obwerufu era nga bafaayo.

Yatenderezza enkolagana ennungi eriwo wakati wa Eklezia ne Bukedde n’asabira buli kitongole kya Vision Group kyongere okukula ku lw’obulungi bw’eggwanga.

Haji Nsereko Mutumba, omwogezi wa Uganda Muslim Suprem Council eyayogedde ku Lwobusiraamu yasiimye Bukedde okusoosowaza ensonga z’obusiraamu bwe baateekawo omuko gw’Obusiraamu buli Lwakutaano ate nga mu kisiibo bawaayo omuko buli lunaku.

Yasabye ekitongole kyonna ekiba kiwandiikiddwako amawu­lire agakikoona bafube kweter­eeza kuba balina okukimanya nti Bukedde ye ttooci etuuka buli wantu.

Eby’obulamu, eby’obusuubuzi, emizannyo yabyogeddemu ng’ebimu ku biganyuddwa eki­nene olwa Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...