TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Kazimba alaze by'atandikirako n'asaba obuwagizi

Bp. Kazimba alaze by'atandikirako n'asaba obuwagizi

By Benjamin Ssebaggala

Added 30th August 2019

SSAABALABIRIZI w'Ekkanisa ya Uganda omulonde, Rt. Rev. Stephen Kazimba Mugalu alaze by’agenda okussaako amaanyi amangu ddala ng’atuuziddwa mu ntebe y’Obwassaabalabirizi.

Kaziimba2 703x422

Ssaabalabirizi omulonde Bp. Kazimba n'Omulabirizi w'e Bukedi Samuel Egesa (ku kkono).

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA, PONSIANO NSIMBI,SOFIA NALULE ne LUKE KAGIRI
 
SSAABALABIRIZI w'Ekkanisa ya Uganda omulonde, Rt. Rev. Stephen Kazimba Mugalu alaze by’agenda okussaako amaanyi amangu ddala ng’atuuziddwa mu ntebe y’Obwassaabalabirizi.
 
Yagambye nti bingi ebibadde bikolebwa by’agenda okutwala mu maaso naye nga ekimu ku by’agenda okussaako essira kwe kwongera okubuulira enjiri eryowa omwoyo ate n’ekyusa n’omubiri.
 
Mu mboozi ey’akafubo ne Bukedde nga waakayita olunaku lumu ng’amaze okulangirirwa nga Ssaabalabirizi omuggya, Kazimba yakikkaatirizza nti enjiri ly’ekkubo erisobola okwongera okutebenkeza abantu n’eggwanga.
 
Yawadde ekyokulabirako nti, abantu abamu obulamu babutwala batyo batyo abalala baabulwa dda essuubi naye ssinga omuntu abeera alokose kisobola okumuyambako n’akyusa endaba y’ebintu nga kino kisobola okwongera okubeezaawo Ekkanisa n’eggwanga.
 
Yagambye nti ettemu, obubbi, enguzi weebiri kubanga abantu balina engeri gye balabamu ebintu kubanga tebannasembeza Kristu, naye bwe balokoka bakyusa enneeyisa ne balongoosa mu by’omwoyo n’eby'omubiri.
 
Yagambye nti we yatuukira e Mityana alina ebitundu bye yali yeewuunya ng’alaba abantu engeri gye balabamu buli kintu nzibu nnyo naye bwe bababuulidde enjiri, bangi bagenze bakyusa obulamu ne busobola okutambula.
 
Yagumizza Abakristaayo nti bo ng’abaweereza beetegefu okuweereza kyokka n’asaba abantu okumuwagira ennyo mu buvunaanyizibwa obupya obwamukwasiddwa.
Kazimba waakutuuzibwa mu March w’omwaka ogujja ku Bwassaabalabirizi ng’adda mu bigere bya Rt. Rev. Stanley Ntagali agenda okuweza emyaka 65 mu March w’omwaka ogujja era w’agenda okuwummulira.
 saabalabirizi omulonde p azimba enjiri agibuulira ne mukyala we era agenda kweyongera mu maaso nenkola eno Ssaabalabirizi omulonde Bp. Kazimba enjiri agibuulira ne mukyala we era agenda kweyongera mu maaso n'enkola eno.

 

 
Kazimba yagambye nti ekintu ekirala ky’agenda okussaako amaanyi by’ebyenkulaakulana, okulwanyisa obwavu mu bantu n’okutumbula pulojekiti z’Ekkanisa kubanga enkulaakulana bw’ebeerawo, n’okusaasaanya enjiri mu bantu kwanguwa.
 
Yasabye ab’e Mityana nti by’abadde akola babitwale mu maaso. Yagambye nti bagenze okumulonda nga yaakamala okwongera amaanyi mu kitongole ekibuulira enjiri e Mityana okutalaaga Obulabirizi nga babuulira enjiri kye baavudde bakigulira n’emmotoka empya erina okubatambuza.
 
Rev. Isaac Lubega abadde omuyambi we ali Bulaaya kyokka bwe yabadde agenda e Bulaaya wiiki ewedde yayise Rev. Kansiime akulira ekitongole ekibuulira enjiri okuyambako mu kwongera amaanyi mu kunnyikiza enjiri.
 
Kazimba olwamaze okulangirirwa e Namirembe n’ayolekera e Mityana era yayaniriziddwa mu mizira. Yasimbudde e Namirembe ssaawa nga 8:30 ez’emisana ku Lwokusatu era teyatambulidde mu mmotoka ye eyaabulijjo.
 
Waliwo Omukristaayo eyamuvugidde mu mmotoka ye ey’obwannannyini. Abakristaayo baabadde ne Mukyalawe baamulindidde ku nsalo ya West Buganda ne Mityana e Zigoti we baabadde nga bakuba ehhoma n’okuyimba.
 
Bwe yabadde ayingira e Mityana mu kibuga yasanzeewo abamulindiridde era okuva awo okutuuka ku Lutikko e Namukozi baatambuliddewo kumpi essaawa nnamba. Yakulembeddwa bbandi eyakubye nga n’emmotoka ziseeyeeya okutuuka ku Lutikko awaabadde okusaba okw’okussa ekimu.
 
Okujaganya kwe kumu kwabadde ne mu Bulabirizi bw’e Mukono, Kazimba gy’asibuka era gye yasooka okuweerereza nga tannalondebwa kufuuka Mulabirizi w’e Mityana ng’adda mu bigere bya Dr. Dunstan Bukenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...