TOP
  • Home
  • Amawulire
  • E Mityana batandise okunoonya anaddira Kazimba mu bigere

E Mityana batandise okunoonya anaddira Kazimba mu bigere

By Benjamin Ssebaggala

Added 30th August 2019

OBULABIRIZI bw’e Mityana butandise okunoonya anadda mu bigere bya Rt. Rev. Dr. Kazimba eyalondeddwa ku Bwassaabalabirizi bwa Uganda.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA ne LUKE KAGIRI
 
OBULABIRIZI bw’e Mityana butandise okunoonya anadda mu bigere bya Rt. Rev. Dr. Kazimba eyalondeddwa ku Bwassaabalabirizi bwa Uganda.
 
Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu olwatuuse e Mityana n’alagira bayite olukiiko lw’Obulabirizi mu bwangu lusunsule amannya balondeko abantu babiri be banaaweereza mu lukiiko lw’Abalabirizi balondeko agenda okumuddira mu bigere.
 
Yasinzidde mu Lutikko e Namukozi mu kusaba okw’okussa ekimu n’ategeeza Abakristaayo nti enteekateeka ye ey’omwaka guno tebaddeeko kusiibula wabula okutandika ne Ssande ya wiiki eno, buli w'anaabeera agenda, agenda kuba ng’asiibula kubanga alina okuvaayo okudda e Namirembe mu 2020 bamukwase Obwassaabalabirizi mu March wa 2020.
 
Omuwandiisi w’Obulabirizi bw’e Mityana Rev. Can. James R. Ssendegeya yategeezezza nti balina okuyita mu mitendera bayite olukiiko lwa Synod lulonde akakiiko akanaasunsula amannya g’abantu kwe bayinza okulonda anadda mu bigere era asuubira nti, olukiiko bajja kuluyita mu November.
 
“Tusuubira nti December 15 nga batuuza Omulabirizi wa West Lango Venerable Julius Ceaser Nina n’owa Mityana bajja kubeera nga bamulonda", Can. Ssendegeya bwe yannyonnyodde.
 
Ayogedde ku mukama we nti aludde ng’abayigiriza okubeera abeetowaze babeera nga balina ne ssente oba nga tewali kubanga bwe weetowaza mu maaso g’abantu ne Katonda akuyimusa mu maaso ge.
 
Omulabirizi eyawummula Hannington Mutebi ye yabuulidde mu kusaba kuno n’agumya abantu b’e Mityana nti Katonda eyabawa Kazimba era waakubalondera omuntu omulala anaatwala obuvunaanyizibwa mu maaso.
 
Kazimba nga baakamala okumulangirira yakunze Bannayuganda bonna, Gavumenti n’Abakristaayo bonna okumwegattako okuzimba Ekkanisa.
 
Yagambye nti, bamukwasizza obuvunaanyizibwa mu kiseera ekijjudde okusoomoozebwa wabula akakasa nti, Katonda embeera gy’ayiseemu y'ebadde esinga okubeera enzibu kubanga yazaalibwa mu mbeera nga ssi nnyangu kyokka Katonda akuggya mu kisa n’akuyingiza mu kisa era ajja kumuwa ekisa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwamukwasiddwa.
 
AB’E MITYANA BOOGEDDE ENKULAAKULANA YA KAZIMBA
Rev. James Kityo Ssemuyaba ow’e Businziggo: Ffe ng’abaweereza atuwadde eky'enjawulo mu by’okubuulira kubanga bw’atandika okubuulira toyagala amalirize. Ng’oggyeko Ekkanisa Lutikko abantu gye beenyumirizaamu, Ekkanisa zonna azikyusizza era bw’osanga gye batannaba kumenya kuzimba bagikyusizza amabaati.
 
Yasanga abaweereza basatu bokka be balina emmotoka kati abalina bali 92 abatalina bali 20 bokka kyokka enteekateeka agikoze essuubi weeriri nti omwaka ogujja nabo baakuzifuna.
 
Yasanga abaawule abalina diguli bali bana kati alese bali 50 abalina diguli eyookubiri 22 ate bana basoma Phd mu Sweden, Amerika ne South Africa.
 
Daudi Malagala Katikkiro w’ekika ky’Embwa era nga ye yali Omukubiriza w’Abakristaayo eyasooka nga Kazimba yaakaweebwa: Tumwebaza okukomyawo entebe yali yakoma ku Nkoyoyo.
 
Ekiseera kyonna ky’amaze e Mityana tujja kumujjukira, aleese enjiri abantu balokose.
 
Yakyusa ennyumba y’Omulabirizi n’agifuula kumpi lubiri, yazimba ofiisi z’Obulabirizi n’ayongerako Lutikko ne Guest House bbiri. Yanunula ettaka ly’Ekkanisa yiika 350 abantu ne balivaako mu mirembe.
 
Yazimba Pension House ku yunivasite e Ndejje kino kisulo ky’abayizi ssente ezivaamu ze ziyamba abaweereza abaawummula.
 
Aguze ebizimbe by’obusuubuzi bibiri mu kibuga Mityana era wiiki ewedde yagguddewo ekizimbe kya kalina ssatu mu Mityana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...