TOP

Kulubya aziikiddwa mu bitiibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st September 2019

Kulubya aziikiddwa mu bitiibwa

Nze1 703x422

Abafamire y’omugenzi Kulubya mu kusaba. Ku ddyo mu gaalubindi ye Amelia Kyambadde ate mu katono ye mugenzi Kulubya.

OMWANA w’omwami Ssenseko Kulubya aziikiddwa mu kitiibwa wakati mu b’ekika ky’Empeewo okukukkuluma ku ky’okulaga omusika ng’olumbe terunnayabizibwa.

Aziikiddwa ku biggya bya bajjajjaabe e Kabuwambo - Busuubizi mu munisipaali y’e Mityana ne bamutendereza okuba omuntumulamu, omugabi, muyonjo era n’okwagala Obwakabaka bwa Buganda.

Omukolo gw’okuziika gwatandise n’okusaba okwakulembeddwa Abalabirizi abaamummula Samuel Balagadde Ssekkadde (Namirembe) ne Willison Mutebi (Mityana) ne batendereza omugenzi okwagala eddiini n’okutya Katonda.

Afudde ayatudde Kristo ne basaba abantu bonna okumulabirako. Omulabirizi Mutebi bwe yabadde abuulira yeewuunyizza ebintu ebitali byabulijjo ebisusse ensangi zino n’avumirira ekikolwa ekyakoleddwa bannaddiini mu kusabira omugenzi e Namirembe eky’okuteekako omusika mu ngeri eya kiyita mu luggya kye yagambye nti takiwagira kubanga si kya buwangwa wadde okuba eky’ennono.“Nze nkirinako obuzibu kubanga omuntu owaamaanyi ng’ono bw’agenda oluusiabantu be abasinga n’omusika yennyini bayinza okubeera emitala w’amayanja.

Bwe bahhgamba nti omusika wuuno nze eyo situnulayo mbirekera mukulu wa kika nga nze nkola mulimu gwange gwa kusaba nga hhenda. Abantu abamu basigala boogera nti tebaataddeko musika baamwogedde bwogezi. N’olwekyo tukole ebintu ebigenda n’embeera naye ate nga tetusobya buwangwana kkanisa”, Bp. Mutebi bwe yategeezezza.

Godfrey Kataleka Ow’essiga lya Mugembe mu kika ky’Empeewo alaze okunyolwa olw’engeri omusika wa Kulubya gye yalagiddwaamu mu bwangu kye yayise okupapa n’asaba olumbe lwabizibwe mu budde obulagiddwa era omusika ateekebweko mu mitendera.

“Tetunyooma bannaddiini naye ekikolwa ky’okulaga omusika mu kkanisa, ffe ng’abekika kitukoze bubi kubanga kiraga nti waliwo bye bakukusa kubanga omugenzi obuvunaanyizibwa bw’abadde nabwo tewali kipapya kuteekako musika nga waliyo n’abantu be ababeera ebweru w’eggwanga era ffe olumbe lwe twagala lutambuzibwe mu mitendera nga bwe girambikiddwa”, Kataleka bwe yagambye.

Ye Minisita w’amakolero n’obusuubuzi Amelia Kyambadde ayogedde ku kitaawe nti, abadde mpagi luwaga mu famire ne mu kika kubanga y’abadde asigaddewo yekka era yabadde akyayogera n’atulika n’akaaba oluvannyuma n’ategeeza nti basigadde mu mayengo era beetaaga okubasabira.

Nnamwandu w’omugenzi Juliet Kulubya atenderezza bba okubudaabuda n’okukumaakuma famire emyaka egisoba mu 50 gy’amulabidde nga bali mu bufumbo. Amwogeddeko nti bba abadde musabi era ng’akimugamba lunye nti asaba Katonda asooke kutwala ye (Kulubya) wadde nga ye (omukyala) si ky’abadde ayagala era n’asaba Katonda awe bba ekiwummulo eky’emirembe.Wabula enkuba eyafudembye yataataaganyizza okuziika era abantu ba lubatu be baatuuse ku ntaana olw’enkuba eyabadde empitirivu.

AKULIRA OLUGGYA LWA KULUBYA AYOGEDDE KU MUSIKA

Isaac Kityaba akulira oluggya lwa Nakajja omugenzi Kulubya mw’ava agambye nti, ekyakoleddwa mu kkanisa eky’okulaga omusika, tekiggyaawo kwabya lumbe lwa mugenzi kubanga bannaddiini kye baakoze kwabadde kulaga musika naye teyasumikiddwa era olumbe lwa Kulubya terunnaba kwabizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...