TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusajja wa Rema omupya aleseewo omukazi omulala

Omusajja wa Rema omupya aleseewo omukazi omulala

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd September 2019

Bba wa Rema omupya gw’agenda okwanjula asoose kulekawo mukazi mulala gwe yazaalamu omwana.

Ke 703x422

Rema eyayawukanye ne Eddie Kenzo yafulumizza kaadi z’okwanjula kwe ne Dr. Hamzah Ssebunya okulibaawo nga November 14, 2019.

Kyokka kyategeezeddwa nti Ssebunya okutwala Rema yasoose kusuula muwala mulala gw’alinamu omwana.

Wabula ab’enkambi ya Rema bategeezezza nti Rema tabbye musajja wa munne kubanga Ssebunya yali yayawukana dda n’omuwala oyo. Era Rema bwe yali tannakkiriza kumwanjula Ssebunya yasooka kubakakasa bw’atalina mukazi mulala yenna.

Rema Namakula okufulumya kaadi z’okwanjula y’ebadde entikko y’okwawukana ne Kenzo gw’alinamu omwana omu.

Bukedde yayogedde ne Kenzo mu kiseera kino ali mu Amerika n’ategeeza: Nneewuunya abansalira omusango abeefudde nti bamanyi nnyo ensonga zaffe ne Rema.

Ebya Rema mbirekedde Katonda kubanga y’amanyi ekituufu ekiriwo wakati waffe ffembi.

Yabadde ayogera mu ngeri ya kukolima ne yeewuunya mikwano gya Rema abamulumba ku ttivvi ne ku yintaneeti kyokka nga basinziira ku bulimba tebamanyi kituufu.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...