TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema alonze olukiiko olutegeka emikolo n'omwami we omupya

Rema alonze olukiiko olutegeka emikolo n'omwami we omupya

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd September 2019

Rema yalonze olukiiko olutegeka okwanjula okulibeera e Nabbingo ku lw’e Masaka nga November 14.

Grenda 703x422

Olukiiko lukulirwa Hajji Issa Musoke. Rema amaze ekiseera ng’alina obutakkaanya ne Kenzo kyokka ng’emirundi mingi babussa ku bbali ne bakola bombi ebivvulu.

Issa Musoke yategeezezza Bukedde nti Obusiraamu bulagira abafumbo bwe baawukana omukazi amale emyezi ena alyoke afune omusajja omulala kyokka ye Rema amaze emyaka ebiri.

Kigambibwa nti Kenzo ‘yanoba’ awaka e Seguku ku lw’e Ntebe, emyaka ebiri egiyise n’adda ku lw’e Salaama ng’asula mu sityudiyo ye eya Big Talent.

Rema yakola ekisoboka okuddihhana n’ayiiya ennyimba okuli ‘Siri muyembe’, ‘Linda’, ‘Touch my body’ n’endala kyokka Kenzo yalinga addayo eka ate ne yeeyongererayo ddala e Buziga gy’asula kati.

Olwo Rema naye kwe kwefunira omusajja omulala. Issa Musoka yagambye: Njagala okwebaza Kenzo ne Rema nti mu byonna bye bayiseemu basobodde okukwata ensonga zaabwe mu mbeera eya kisajja kikulu okutuusa lwe bakkiriziganyizza baawukane mu mirembe.

Mu luyimba lwa ‘siri muyembe’ Rema agamba “siri muyembe nti onninda kwengera oba paapaali nti owanula lyengedde.” Kuno agattako nti “nkulinze”.

Engeri Hamzah gye yakwaanamu Rema Bano bamaze emyezi egisoba mu musanvu nga baagalana era Hamzah okukwana Rema baasisinkana Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero (UMA) Rema gye yali agenze okuyimba ku mukolo ogumu.

Hamzah yasooka kutegeeza Rema nga bw’ali omuwagizi we n’amusaba amubuuzeeko n’okwekubya naye ekifaananyi oluvannyuma n’amusaba amuwe ku nnamba ye ey’essimu.

Wano Hamzah we yatandikira okumutokota.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191122at145535 220x290

Amataba gasazeeko enkulungo y'oku...

Enkuba efudembye mu Kampala n'emiraano mu budde bw'amalya g'ekyemisana egootaanyizza entambula ku nkulungo y'oku...

Mosesmagogo 220x290

Ebya Moses Magogo bibi!

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’Ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni ayingidde mu nsonga za Pulezidenti wa FUFA, Ying....

Klezia etegese okusabira Novena...

NGA Uganda yeetegekera okukuza olunaku lwa siriimu olukuzibwa mu nsi yonna nga December 1, Klezia etegese Novena...

Film1 220x290

Embooko z’abawala ezongedde ebbugumu...

Endabika y’abawala bano (okuba abalungi mu ffeesi) n’okuba ne ffiga ennungi tebikomye ku kubatunda nga bbo mu bantu,...

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...