TOP

Rema kati asula wa Hamzah

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd September 2019

Rema azimba enju e Kyaliwajjala. Bangi babadde balowooza nti gye yasengukira.

Remamusajja2 703x422

Kyokka ensonda zaagambye nti abeera wa Hamzah era enju ye (Rema) tennaggwa.

Okuva e Seguku, Rema yamaze kuddiza Kenzo mahare ssente ze yamuwa ng’amuwasa). Issa Musoke yategeezezza nti ennyumba y’e Seguku kati Rema ke yavuddeyo yagirekedde Kenzo.

Muwala waabwe Amaal yagenze ne Rema kyokka Kenzo akkirizibwa okumulaba w’amwagalira.

Rema era abadde abeera ne muwala wa Kenzo omukulu Maya (Kenzo yamuzaala mu mukyala mulala). Bino we bibeereddewo ng’omwana yagenda kuwummula ewa nnyina.

Abantu abenjawuulo baludde nga babuulirira Kenzo awase Rema kyokka n’alema nti tewali agenda kumukaka kuwasa mukazi.

“Okuwasa omukazi kiva mu kusiima nkolagana gy’olina ne munno. Okuwasa tekuba kwa mpaka era ekiseera ekituufu bwe kinaaba kituuse nga nsazeewo nja kubabuulira. Kati mumbuuze ebirala ebizimba eggwanga.” Kenzo bwe yagamba gye buvuddeko.

ENTEEKATEEKA Z’OKWANJULA ZIRI MU GGIYA

Ku Lwokutaano akawungeezi, Rema yafulumizza kaadi z’okwanjula. Kujja kubeera mu maka ga Yusufu Sserunjogi (taata wa Rema omuto) e Nabbingo mu Bataka.

Issa Musoke yategeezezza nti kumpi buli kimu kiwedde era kati balindiridde lunaku lwa mukolo. Emitendera gyonna Rema ne Hamzah bagiyiseemu.

Tebajja kukuba nkiiko za kusonda ssente.

REMA YASIIBUDDE KENZO MU BUTONGOLE

Nga tannaba kufulumya kaadi za kwanjula, Rema yakubidde Kenzo essimu n’amutegeeza enteekateeka n’okumusiibula. Kyokka bino we bijjidde nga waliwo obubonero obulaga nga Kenzo ayagala baddiηηane ne Rema.

Gye buvuddeko Kenzo yategekedde Rema akabaga k’amazaalibwa (Surprise party).

Rema yagaanyi okwogera ku by’okwanjula nti ensonga za ssenga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...

Capture 220x290

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu...

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu ddwaliro: Balaajanidde abazirakisa okubadduukirira