TOP

Wuuno omuwala Hamza gwe yasuddewo

By Martin Ndijjo

Added 3rd September 2019

Dr. Hamzah Ssebunya, bba wa Rema omupya musajja atanyigirwa mu ttooke. Bwe yafunye Rema n’alekawo omuwala Betty gw’abadde yaakawaliriza okusiraamuka n’amuwoowa.

Remamusajja129603 703x422

Hamzah ne Betty gwe yasiramula nga babawoowa.

Betty yalabagana ne Ssebunya mu 2017, nga Betty akyasoma Makerere ng’akola ku dduuka lya Dr. Ssebunya.

Omuwala yatikkirwa mu January 2017 era Ssebunya n’amuwoowa mu April 2017.

Baatandikirawo okubeera bombi e Bukoto. Kigambibwa nti Ssebunya yatandika okukwana Rema era n’akyuka mu nneeyisa.

Betty yatandika okwekengera Ssebunya era olumu aba ayita mu ssimu ye n’agwa ku mesegi Rema ze yali amuweerezza.

Betty teyasooka kukifaako kubanga Ssebunya yali awandiika nga Rema tamuddamu.

Bwe waayitawo akaseera, Ssebunya n’ava awaka n’atandika okubeera e Namugongo gye yazimba.

Okuva olwo Betty abadde yebuuza ekyatuuka ku bba bwatyo naye (Betty) n’addayo mu bazadde be e Kireka.

Yagenze okuwulira nti Ssebunya agenda kwanjulwa Rema.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...