TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Fr. Kiibi atwaliddwa mu kigo ky’e Mitala Maria

Fr. Kiibi atwaliddwa mu kigo ky’e Mitala Maria

By Lawrence Kizito

Added 3rd September 2019

SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akoze enkyukakyuka mu Basaseredooti mu ssaza lino ery’e Kampala.

Bya LAWRENCE KIZITO ne PONSIANO NSIMBI
 
SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akoze enkyukakyuka mu Basaseredooti mu ssaza lino ery’e Kampala. 
 
Mu nkyukakyuka zino abadde omumyuka wa bwanamukulu e Lubaga, Fr. Deogratious Kiibi Kateregga akyusiddwa n’atwalibwa mu kigo kya St. Bruno e Mpigi nga Bwanamukulu. 
 
Mu Missa eyookusatu Kiibi gye yakulembeddemu ku Ssande nga yabatirizzaamu n’abaana abasoba mu kkumi, yalangiridde nti yakyusiddwa n’atwalibwa e Mpigi era n’ategeeza nti bbo balinga baserikale nga bwe bakukyusa tobuuza kigambo kyonna kuba obeera walayira okuwulira Omusumba n’abalimuddirira. 
 
Yasabye abantu bonna abaatwala ebbaasa z’okudduukirira omulimu gw’okugula emizindaalo mu Klezia, okuzikomyawo mu bwangu asobole okukola embalirira nga tannaba kugenda. 
 
Akulira eby’amawulire mu ssaza Ekkulu ery’e Kampala yategeezezza nti buli mwaka enkyukakyuka zino zikolebwa mu Eklezia okusobozesa Abasaseredooti abaakafuluma okufuna ebifo. 
 
Yayongeddeko nti enkyukakyuka zino, zikyagenda mu maaso ng’olukalala olwenkomeredde terunnaba kufuluma.
 
Abasaseredooti abamu bagenda ku misomo abalala bagenda mu kuwummulamu era n’agamba nti enkyukakyuka zino zaakutandika okukola nga September 27, 2019.
 
ABAAWEEREDDWA EBIFO
Abaabadde baakafuna Obusaseredooti baasindikiddwa mu bifo eby’enjawulo; 
Fr. William Rafael Gayi ne Fr. Henry Mubiru -Seminariyo e Kisubi, Fr. Ronald Kazibwe -Mitala Maria, Fr. John Muyanja – Kampalamukadde, Fr. Nicholas Mulumba – Bulo, Fr. Victor Mubiru – Nsambya, Fr. Ronald Kyambadde –Seminariyo e Nyenga, Fr. Mathias Nteza – Yezu Kabaka, Fr. Timothy Lukanaso – Lubaga (Ye yazze mukya Fr. Kiibi), Fr.  Julius Kanyike – Kiwatule, Fr. Raymond. M Ssebina – Ggaba, Fr. John Mary Walugembe – Kibuye – Makindye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...