TOP

Namwandu wa Kitayimbwa alaajanidde abazirakisa

By John Bosco Mulyowa

Added 4th September 2019

NAMWANDU wa Ssaalongo Ronald Kitayimbwa 35 , eyattiddwa n’omuwala Maria Naggiriinya alaajanidde abazirakisa okumuyaamba ku mbeera mwe yasigadde omuli omuwendo gw’abaana bamulekwa aba bba abataandise okuleetebwa ng’ate yasigadde talina buyambi kuba yabadde takola nga buli kimu alabira awo.

Meet 703x422

Loodi Meeya Lukwago mu maka g’omugenzi Kitayimbwa eyawambiddwa n’attibwa.

Ng’oggyeeko abaana abataano ababe okuli n’abaalongo ab’emyezi ena, waliwo abatandise okuleeta abaana abalala ab’omugenzi nga mu kuziika e Kaalubanda waaliwo omwana omulenzi eyaleeteddwa nti, naye mulekwa nga kigambibwa nti, Kitayimbwa yamuzaala Mpigi gye yamala ebbanga ng’akola nga tannajja mu Kampala.

Namwandu agamba nti alina essuubi nti, abaana abalala baakweyongera okuleetebwa kyokka mweraliikirivu ku biseera by’abaana baabwe kubanga yasigadde talina waataandikira kubalabirira mu kiseera kino.

Yategeezezza nti, bba yamulese mu nnyumba eyabadde tennaggwa nga temuli madirisa ng’empewo abaana naddala abato ebayisa bubi kw’ossa okuba nti abalongo be bu;i lunaku babadde banywa liita z’amata ssatu nga kati mu kiseera kino tamanyi w’ageenda kutandikira kubalabirira be okuli n’ababadde basoma ku Eden Children Center P/S abali mu bibiina eby’enjawulo.

Yalaajanidde abazirakisa baamuyaambeko okusobola okumaliriza ennyumba ye n’okumuyamba ku baana ate n’alaajanira abeebyokwerinda okuyamba okuzuula ekyabadde emabega w’okutemulwa kwa bba.

LOODI MEEYA ATUTTEYO KU BUYAMBI

Loodi Meeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago yagenze e Nalumunye mu maka ga Kitayimbwa n’abaako obuyambi bwe yatwalidde famire.

Lukwago yatutteyo bintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo omubadde; omuceere, ssukaali, obuwunga, ebyokunywa, seminti ayambeko mu kumaliriza ennyumba ne kaabuyonjo ebyasigadde nga sibimalirize kyokka nga ne fiizi z'abaana abasatu abasoma ez'omwaka guno zikyabanjibwa.

Lukwago asabye Bannayuganda abeesobola yonna gye bali okuvaayo badduukirire namwandu wa Kitayimbwa kuba asigadde mu mbeera nzibu nga yeetaaga okuyambibwako okukuza abaana.

Yeennyamidde olw'ettemu erisusse mu ggwanga n’asaba ebitongole ebikuumaddembe okusitukiramu awatali kuteekamu nsonga za byabufuzi kubanga kikwata ku bulamu bwa Bannayuganda.

Rogers Nsabimana, ssenteba wa siteegi ya bodaboda eya Lebron omugenzi Kitayimbwa w’abadde akolera agambye nti, omugenzi abadde wa mazima ate omuntumulamu ng'abantu bangi bamwesiga okubeera ddereeva waabwe n'okubatwalira ebintu nga baliko gye balaga.

Abatuuze b'e Nalumunye omugenzi Kitayimbwa gy’abadde abeera, baasabye Gavumenti efulumye lipoota ku kuwamba n’okutta abantu mu ggwanga, kubanga kati buli omu mweraliikirivu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

5216 220x290

Kkondomu ezisoba mu kakadde 1 ezirimu...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu