TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Biibino ebyasikirizza Rema okusuulawo Kenzo n'agenda ne dokita Hamza Ssebunya

Biibino ebyasikirizza Rema okusuulawo Kenzo n'agenda ne dokita Hamza Ssebunya

By Martin Ndijjo

Added 4th September 2019

Rema okusalawo okugenda ne Dr. Hamzah Ssebunya yasoose kubuuliriza n’amulabamu omulamwa kubanga muyigirize, ava mu famire y’abategeevu, mugagga ate abeera n’abagagga b’alya nabo obulamu.

Koona 703x422

Ssebunya ne Rema.

Obwo bwe bulamu Rema bw’ayagala era aludde nga yeemulugunya nti ekirimulemya Eddie Kenzo tamuwa budde bumala kukola laavu, tebagendako awutu ate Kenzo eby’okwanjula Rema n’okumukuba embaga abadde alaga nga si by’aliko.

Ye Ssebunya bwe yamaze okusiimagana ne Rema yamukakasizza okumwanjula amukube n’embaga.

Rema ludde ng’akiddihhana nti bwe ziba ssente asobola okuzeekolera, bwe ziba ngoye asobola okuzeegulira, ennyumba nazo asobola okuzizimba.

Ky’ayagala ku musajja kumuwa mukwano omujjuvu, kumwanjula n’okumukuba embaga.

Ssentebe w’abagagga abeegattira mu kiibiina kya Kwagalana, Godfrey Kirumira atera okulabibwa ne Ssebunya. Era Kirumira yategeezezza Bukedde nti Ssebunya mutabani we ddala.

“Oyo mutabani wange Dokita w’e Mulago. Yakuguka mu byakujjanjaba bakyala. Kitaawe ye mugenzi Ahmed Kibirige eyali ssente w’abasuubuzi Bannayuganda e Dubai, kyokka yafa emyaka munaana egiyise,” Kirumira bwe yayogedde ku Ssebunya.

N’agamba: Ssebunya tumwenyumiririzaamu kubanga Dokita.

Naye ate omusaayi gwaffe omusuubuzi nagwo gumulondodde.

Alina bizinensi ye mu Kampala- asuubula n’okutunda ebintu ebikozesebwa abasawo oba mu malwaliro. Bizinensi ya Ssebunya eri ku Johnson Street.

Waliwo ebifaananyi ebyaweerezeddwa Bukedde ebiraga Ssebunya ng’alya obulamu n’abagagga okuli Kirumira ne Hajji Hamis Kiggundu eyakazibwako Ham nga bali ku lyato.

Kirumira yategeezezza nti eryato kw’alabikira ne Ssebunya lyamutonerwa Ham ng’ekirabo era bonsatule ne baligenderako ku nnyanja.

Kirumira yagambye nti Ssebunya okuwasa Rema kimussa mu kattu kubanga Ssebunya mutabani we ddala.

Ate Kenzo naye amutwala nga mutabani we kubanga Kirumira abadde omu ku bamuleze ng’amussaamu ssente okutumbula ekitone kye eky’okuyimba.

Kyokka kyategeezeddwa nti Rema yasooka okusisinkana Ssebunya ku mukolo ogumu ogwali ku Uganda Manufacturers Association (UMA) e Lugogo. Eno Rema yali agenzeeyo kuyimba.

Ssebunya yasaba Rema okwekubya naye ebifaananyi ng’omuwagizi we. Bwe waayitawo akaseera, Ssebunya n’anoonya ennamba y’essimu ya Rema n’amuweereza ebifaananyi bye beekubya ku UMA.

Bwe yamala okuweereza ebifaananyi n’atandika okuweererezaako mesegi ku ssimu kyokka nga Rema tayanukula.

Rema mu kiseera kino yali mu bizibu ne bba Kenzo. Bwatyo n’atandika okunoonyereza ku Ssebunya.

Wano mikwano gya Rema kwe kumuwa amagezi anyweze Ssebunya kubanga ye musajja ow’ekirooto kye era Katonda yali yamumulaga dda kye yava ayimba oluyimba lwa “Dokita” mu 2014 wadde nga Rema yali tannamanya nti alifumbirwa Dokita.

Mu kiseera kino, Ssebunya we yafunira obuzibu ne mukazi we eyasooka Betty eyali omukozi we n’amusiramula era ne babawoowa mu April 2017.

Mikwano gya Betty bagamba nti Betty yakebera essimu ya bba n’asangako mesegi emptirivu bba ze yasindikiranga Rema.

Kyokka yasooka butabifaako kubanga ku ssimu tekwaliko mesegi za Rema ng’ayanukula.

Kigambibwa nti Rema bwe yakkiriza okusisinkana Ssebunya olwo Rema n’amuteerawo obukwakkulizo bw’aba nga ddala ayagala babeere bombi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.