TOP

Obukwakkulizo Rema bwe yawa dokita Ssebunya

By Musasi wa Bukedde

Added 4th September 2019

Mu bukwakkulizo kwaliko Ssebunya okukakasa Rema okumukuba embaga; wadde Ssebunya Musiraamu kyokka alina okuleka abakazi abalala abeere ne Rema yekka; okumufumbirwa ng’agenda mu ddya n’omwana we Amaal gwe yazaala mu Kenzo.

Remamusajja2 703x422

Dr Ssebunya ne Rema

Kigambibwa nti okutuukiriza obukwakkulizo, Ssebunya kye yava alekawo mukazi we Betty gwe yaleka mu nju gye baali bapangisa e Bukoto.

Ssebunya n’agenda mu nju gye yali yaakamaliriza e Namugongo.

Rema naye yava ewa Kenzo e Seguku n’atandika okubeera ne Ssebunya.

Famire ya Ssebunya erimu eddiini y’Obusiraamu. Ssebunya yawabulwa okutwala Rema mu bazadde be ng’ekisiibo(Ramadhan) tekinnatandika mu May 2019.

Bwe batyo baakola omukolo gwa “NIKA” ekitegeeza okuwoowa. Ssebunya yasitula Rema n’amutwala ewa nnyina e Kirinnya-Bweyogerere n’amwanjulira famire era Omuwalimu n’abawoowa okubakkiriza okubeera bombi mu ddiini.

Rema bwe yava ewa Kenzo okudda e Namugongo, Kenzo yasooka kuwubisibwa kubanga we yamanyira nti Rema aliko ennyumba gy’azimba e Janda-Namugongo.

Yasooka kulowooza nti gy’agenzeemu so nga yali agenze wa Ssebunya.

Ennyumba ya Rema ya kalina eriko enju ezenjawulo ez’abapangisa. Kyokka tennaggwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...

Capture 220x290

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu...

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu ddwaliro: Balaajanidde abazirakisa okubadduukirira

Lip3 220x290

Ogw'okutta Mozey Radio gw'akusalibwa...

Ogw'okutta Mozey Radio gw'akusalibwa nga 28 omwezi guno