TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kyagulanyi akuutidde ab’e Hoima okukuuma emirembe

Kyagulanyi akuutidde ab’e Hoima okukuuma emirembe

By Musasi wa Bukedde

Added 4th September 2019

AKULEMBERA ekisinde kya ‘People Power’, Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) akuutidde ab’e Hoima okukuuma emirembe n’okugoberera amateeka nga banoonya akalulu mu kulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala owa Hoima.

Kyawa 703x422

Zaake, (ku ddyo), Nyakato (eyeesimbyewo), Kyagulanyi ne Joel Senyonyi ku kisaawe e Booma mu Hoima.

Yasinzidde ku Booma Grounds e Hoima ku Mmande ng’anoonyeza Asinansi Nyakato akalulu.

Nyakato yeesimbyewo ku tikiti ya FDC attunka n’abalala okuli owa NRM Harriet Businge Mugenyi.

Bobi Wine yategeezezza abali ku ludda oluvuganya bonna nti balina okubeera abagumiikiriza era bagoberere ebiragiro ebibaweebwa awo obuwanguzi bujja kubabeera mu ttaano.

Yasabye abalina obuyinza okukulembera abantu bonna mu bwenkanya era babeere beesimbu.

Yalabudde ab’e Hoima okulonda obulungi basobole okugobolola mu mafuta agali mu kitundu kyabwe.

Yabategeezezza nti yonna gye bazze bayita mu kalulu akookuddamu bazze bakakukumba n’awa ekyokulabirako nga bwe baakola e Bugiri, Rukungiri, Alur ne Jinja East.

Nyakato yategeezezza nti agenda okugonjoola ebibadde biruma ab’e Hoima ng’atuusa eddoboozi lyabwe mu palamenti.

We bwazibidde eggulo ng’omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Bunyoro, Julius Allan Hakiza ategeezezza nti baabadde bakutte Ssentebe wa Kasangati Town Council, Tonny Ssempeebwa Kiyimba bwe yabadde akozesa mmotoka ya gavumenti okunoonya akalulu.

Okukuba akalulu kwa September 6, 2019. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza