TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Poliisi ekwate abawala abaasembye okubeera ne baze’

‘Poliisi ekwate abawala abaasembye okubeera ne baze’

By Ponsiano Nsimbi

Added 4th September 2019

NNAMWANDU wa ddereeva wa Fuso mu Ndeeba eyabula ku Lwokutaano alumirizza abawala ababiri abagambibwa okusembayo okubeera ne bba mu bbaala ya Happy Boys e Busega okubaako ne kye bamanyi ku nfa y’omwami we.

Mala 703x422

Nnamwandu ne bamulekwa nga bakaaba. Mu katono ye Omugenzi Gonzaga

Hanifah Nalwadda eyasangiddwa mu maka ge e Kazinga mu Town council ye Kyengera ng’ayaziirana yagambye nti abawala bano poliisi esaanye okubakunya okumanyira ddala ekituufu ekyazsizza bba Gonzaga Yiga.

Nalwadda yakukkulumidde poliisi ye Nateete okusirikira amawulire agakwata ku bba okuva ku Ssande bwe baatandika okumunoonya n’agamba nti bba baamulanze bwemage kubanga abadde talina buzibu na muntu yenna.

Omujaasi wa UPDF ayitibwa Okia yakwatiddwa nga kigambibwa nti ye yakuba omugenzi amasasi agaamuttirawo.

Mulamu wa Nalwadda, Prossy Namulindwa yagenze e Nateete okusaba abaserikale bakebere ku kkamera balabe oba bayinza okuzuula mmotoka ya Yiga engeri gye yali etambulamu.

Wabula Namulindwa yabadde akyannyonnyola abaserikale, ne wabaawo omu ku bo eyamutegeezezza nga bwe waliwo mmotoka y’ekika kya Spacio eri mu paakingi era yagenze okugituukako nga ye ya mwannyina.

Abaserikale baategeezezza nti mmotoka eno baagiggya Nalukolongo, omujaasi we yakubira abantu amasasi.

Namulindwa ayongerako nti baagenze okutuuka mu ggwanika e Mulago ng’omulambo gw’omuntu waabwe gye guli era ne babategeeza nti gwaleeteddwa n’ogw’omuserikale wa poliisi agambibwa okukubwa amasasi e Nalukolongo.

Abooluganda baayongedde okukung’aana ku poliisi ye Nateete era gyabadde miranga na biwoobe.

Carol Nalubega, muwala w’omugenzi omukulu yategeezezza nti omulambo gwa kitaabwe abasawo baagaanye okugubawa ne babategeeza nga poliisi bw’ekyalina by’ekyanoonyereza ku ng’eri gye yattiddwaamu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti bakizudde nti Yiga abadde anoonyezebwa y’omu ku mirambo ebiri egyazuuliddwa e Nalukolongo nga bano baakubiddwa amasasi omuserikale wa UPDF Peter Okia ng’ono yakwatiddwa.

Yagambye emmotoka ya Yiga yasangiddwa esuuliddwa ku mabbali w’oluguudo okumpi n’ekifo we baasanze emirambo gy’ababiri bano.

Yayongeddeko nti abasawo bwe banaaba bamaze okwekebejja omulambo gwa Yiga baakugukwasa abafamire.

Doreena Nakiganda nga naye nnamwandu wa Yiga ow’e Kyengera – Masanda, yategeezezza nti yasemba okulaba ku bba ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde era ku Lwomukaaga bw’ategeera nti bba yabula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.