TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oluyimba lwa Deep in love Rema yaluyimbira dokita?

Oluyimba lwa Deep in love Rema yaluyimbira dokita?

By Martin Ndijjo

Added 4th September 2019

EKIRI ku mimwa gy’abantu lwe luyimba lwa Rema olwa ‘Deep in love’ abamu lwe bayita Dokita lwe bagamba nti Rema yaluyimbira bba omupya Hamzah Ssebunya.

Img20190901113120 703x422

Oluyimba luno lutuukira ddala ku mbeera ya laavu, Rema gy’alimu ne Ssebunya era bw’oluwuliriza naawe ddala muli oyinza okukkiriza nti yaluyimbira Ssebunya.

Olw’okuba luyiseeko ebbanga, ate nga ne Rema omusajja gwe yalaze oluvannyuma lw’okwawukana ne Kenzo, dokita, wano abamu we basinzidde okugamba nti Rema eby’okuva ewa Kenzo yandiba nga yabitandikako dda anti mu luyimba alina w’ayogerera nti ‘Nja kuba omuyaaye bw’aba omuyaaye, Nja kubeera mukyala dokita bw’anaaba nga dokita...’

Tukuwadde oluyimba luno mu bujjuvu naawe weesalirewo: (Ennyanjula) Deep in love Love, give me your love Lover, make me your lover

Ekitundu ekisooka:

Obudde bwe buziba

Nange olwo ne nsanyuka

Owoomukwano mba mmanyi

Nti anaatera okudda

Eey bw’aba akooye mukwatako, ne muwembejja

Bw’aba ewange aba mugumu mujja kukkiriza

Nja kuba omuyaaye

Bw’aba omuyaaye

Nja kubeera mukyala dokita

Bw’anaabanga dokita

Tweyagala ffekka ffekka

Atatwagala akimire

Twesanyusa ffekka ffekka

Bw’oba totwagala bireke

Ekiddibwamu

Deep in love, am deep in love

Ne bw’ojja n’ebimuli nga bya ggolo

Deep in love, am deep in love

Love y’ono tekyagenda

Deep in love, am deep in love

Ne bw’oba n’olubiri mu bwengula

Deep in love, am deep in love

Nze kambeere n’ono sikyatomera

Ekitundu ekyokubiri:

Omukwano guba gwa babiri

Abasatu basattulula

Bw’oba olina nze

Weesige nze, era nkwesige

Eh! Bagamba yakugamba

Baby! Towuliriza bye bakugamba

Ssekalootera bo bali mu kuloota

Ffe tugenda mu maaso

Ahh.. bamidomo midomo tubadde wa

Ehhh.. baby njagaza super glue tubatungeko (X2)

Ekitundu ekyokusatu

Guno omukwano gwe kiba kidongo

Abadongo kusula mu ngatto

Gano amampezi si ga muzannyo

N’abakadde mbalaba mu kazannyo (X2)

Teri X6 amwenkana, Teli X4 tewali eyo atwenkana

Eh!

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...