TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuserikale eyeerippa ku mmotoka yakola kya buzira - Norman Musinga

Omuserikale eyeerippa ku mmotoka yakola kya buzira - Norman Musinga

By Kizito Musoke

Added 4th September 2019

OMUDUUMIZI wa poliisi y’ebidduka owa Kampala n’emiriraano Norman Musinga, atenderezza omusirikale w’ebidduka eyelippa ku boneti y’e motoka, dereva bwe yali ayagala okumutomera.

Musinga59725 703x422

Norman Musinga ng'annyonnyola.

Charles Atiaku ng’akolera ku poliisi y’e Katwe e Makindye yasiimiddwa Musinga oluvanyuma lw’okwerippa ku boneti y’e motoka ya Isaac Boogere namba UAP 100D, bwe yali agezaako okumutomera.

Bino musinga yabyogeredde mu musomo gwe yabaddemu n’abakozi b’emikutu gya Bukedde okuli Olupapula, Ttivvi ne Leediyo ng’abasomesa ku ngeri gye balina okukolamu amawulire ag’obubenje obugwa ku nguudo. Gwabaddewo ku Lwokusatu nga September, 4th,2019 ku kitebe kya Vision Group ekisangibwa mu kibangirizi kya Bannamakolero e Lugogo.

Yategeezezza nti Boogere yakola akabenje ku motoka endala, wabula omusirikale bwe yamuyimiriza n’asalawo okuvuga endiima ng’ajja gyali n’ekigendererwa eky’okumutomera.

Wano omusirikale we yabuukira n’atuula ku boneti y’e motoka, Boogere n’amuvuga okuva e Makindye paka ku nkulungo ya Kabaka e Mengo aba Boodaboda we baamusalirako.

Yagambye nti kino kyali kikolwa kya buzira era asaana kulinyisibwa madaala.

Yatangaazizza nti Abasirikale abakkirizibwa okujjako ennamba ku motoka ebeera ezizza omusango, beebo abali mu kitongole kya I.O.V (Inspectorate of Vehicles) n’abali ku ddaala lya A.I.P n’okudda waggulu.

Abatagwa mu kiti ekyo tebakkirizibwa kukikola okujjako nga bafunye olukusa okuva mu babasingako

Yanyonyodde nti Abasirikale abalala abatali ba bidduka tebakkirizibwa kukwasisa mateeka ku nguudo, n’agamba nti ne bwe baba bakikoze ensonga balina kuzitwala ku poliisi sso ssi kujjako bantu sente nga bali ku luguudo.

Yasabye abantu okukwatanga ennamba za pikipiki n’emotoka za poliisi okubeera abasirikale abayimiriza emotoka ekiro n’ekigendererwa eky’okubajjako sente, bazitwale mu babakulira babakoleko ng’amateeka bwe galagira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...