TOP

Busiro y’anaategeka emikolo gya Bulungibwansi

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2019

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okukuliza emikolo gya Bulungibwansi n'olunaku lwa gavumenti ezeebitundu mu ssaza ly'e Busiro nga kiddiridde essaza lino okunywa mu malala akendo mu nzirukanya n'entambuza y'emirimu mu Bwakabaka n’obubonero 65 ku100.

Bya DICKSON KULUMBA
 
KABAKA  Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okukuliza emikolo gya Bulungibwansi n'olunaku lwa gavumenti ezeebitundu mu ssaza ly'e Busiro nga kiddiridde essaza lino okunywa mu malala akendo mu nzirukanya n'entambuza y'emirimu mu Bwakabaka n’obubonero 65 ku100.
 
Omumyuka ow'okubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa ye yalangiridde kino e Bulange - Mmengo ku Lwokubiri lwa wiiki eno oluvannyuma lw’okulangirira ebyavudde mu lipoota eyakoleddwa olukiiko okuva mu minisitule ya gavumenti ezeebitundu e Mmengo olumaze ekiseera nga lutalaaga amasaza okulaba emirimu bwe gitambuzibwamu okukkakkana nga Busiro esinze amasaza amalala 17.
 
“Ku lwa Katikkiro ntwala okulangirira essaza ly’e Busiro ng’erinywedde akendo mu masaza amalala mu nzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka. Kino kitegeeza nti Bannabusiro musaanye okutandikirawo okwetegekera omukolo guno,” Nsibirwa bwe yategeezezza.
 
Amasaza gaddiringanye bwe gati; Busiro 65, Kyadondo 63, Kyaggwe 61, Butambala 58, Kooki 35, Gomba 34, Bulemeezi 32, Busujju 29.5, Mawokota 28.5, Buddu 28.5, Ssingo 27.5, Mawogola 23.5, Kabula 20.5, Bugerere 20, Ssese 14.5, Buvuma 10, Buluuli Buweekula 9 ku 100.
 
Mu ngeri y'emu ku lw'Obwakabaka bwa Buganda, Nsibirwa akwasizza abantu abaliko obulemu okuva e Buikwe mu Kyaggwe obugaali obutambulirwamu buna okubayamba ku ntambula.
 
Ye Omubaka w'abaliko obulemu mu Palamenti Sofia Nalule Jjuuko yeebazizza Obwakabaka olw'okuteekawo enteekateeka egenderera okuyimusa abaliko obulemu era ne yeeyama okugenda mu maaso ng'akozesa ekifo kye okusakira Obwakabaka emikwano.
 
Ku mukolo gwe gumu, abantu okuva e Buddu ne Kyaggwe baaleese oluwalo lwa nsimbi 8,911,000/- era minisita Kawuki yabeebazizza olw'okuwagira emirimu gy'Obwakabaka.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...