TOP

Basseagambibwa okubba bodaboda

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2019

EKIBINJA ky'abatuuze n'abavuzi ba bodaboda e Lukaya mu Kalungu, bavumbiikirizza omuvubuka abadde abbye bodaboda ya munNaabwe ku lumbe ne bamukuba.

Bya JOHN BOSCO SSERUWU
 
EKIBINJA ky'abatuuze n'abavuzi ba bodaboda e Lukaya mu Kalungu, bavumbiikirizza omuvubuka abadde abbye bodaboda ya munNaabwe ku lumbe ne bamukuba.
 
Poliisi w’etuukidde okumutaasa ng'asigaddeko kikuba mukono era n’afa nga bamutuusa mu ddwaaliro e Masaka.
 
Okusinziira ku Abrahams Tukundane aduumira poliisi mu disitulikiti eno, Farouk Ssuuna 28, ng'abadde muvuzi wa bodaboda ku siteegi ya Muleegangoma e Lukaya, yalabirizza pikipiki y’omu ku bakungubazi Robert Kikulwe, ku lumbe olubadde ku kyalo Kalangala mu ggombolola y'e Bukulula, n'agisimbula n'abulawo nayo kyokka abantu ne bamulabuukirira mangu ne kumutaayiza nga tannagenda wala.
 
Ono bwe yalabye ekibinja ky'abatuuze ekyegattiddwaako aba bodaboda abeekubidde amasimu nga bamuzingizza, kwe kusuulawo pikipiki eno etaabaddeko nnamba n'agezaako okuddusa ebigere wabula ne bamuwereekereza amayinja agaamusudde wansi.
 
Poliisi w’etuukidde ng'omutwe bagubetense n'emuyoolayoola okumutwala mu ddwaaliro wakati mu kugobagana n'abatuuze abaagambye nti ebakoze bubi okutaasa omubbi.
DPC Tukundane avumiridde ekikolwa ky’okutwalira amateeka mu ngalo ky'agambye nti kibuza obujulizi obwandigiyambye okuzuula ekibondo ky'ababbi abatigomya abatuuze okuli n'abavuzi ba bodaboda.
 
Bino we bijjidde nga aba bodaboda e Lukaya baakamala okusisinkana poliisi, abakulembeze n'abeebyokwerinda abalala mu Kalungu nga beemulugunya ku ngeri bannaabwe gye battibwamu mu bubbi bwa pikipiki. Baagamba nti tewaliiwo alipoota ntuufu yeesigamwako ku bikolwa bino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...