TOP

Pulezidenti Mugabe afudde

By Cathy Lutwama

Added 6th September 2019

Robert Mugabe 95, yabadde pulezidenti wa Zimbabwe eyasooka okuva ng’efunye obwetwaaze.

Mugabe1 703x422

Pulezidenti Mugabe

Bya CATHERINE LUTWAMA

Robert Mugabe 95, yabadde pulezidenti wa Zimbabwe eyasooka okuva ng’efunye obwetwaaze.

Abadde amaze akabanga ng’obulamu bwe butawaanyizibwa okusinziira ku famire ye. Abadde ajjanjabirwa Singapore okuva mu April.

 Mugabe yaggyibwa ku bwa Pulezidenti mu November wa 2017 ekyaggalawo obufuzi bwe obwali bukulungudde emyaka 30.

 ugabe ngakyalimu embavu Mugabe ng'akyalimu embavu.

 

Yawangula okulonda kwa Zimbabwe mu 1980 mu kulonda kwa Zimbabwe okwali kusoose okuva lwe yafuna obwetwaze era n’aafuuka Katikkiro. Mu 1987 ekifo kyobwa Katikkiro yakiggyawo n’efuukamu Pulezidenti.

Mu myaka gye ku ntebe egyasooka Bannazimbabwe baamwenyumirirzaamu nnyo olwokugaziya ebyobulamu n’ebyengigiriza eri bannansi Abaddugavu. Naye kino kyakosa nnyo ebyenfuna by’eggwanga era mu myaka gy’obufuzi bwe egyasembayo gyajjulamu ebikolwa ebyokulinnyirira eddembe ly’obuntu n’obuli bw’enguzi.

Eyamusikira Pulezidenti Emmerson Mnangagwa, yalze okunyolwa kwe ku kufa kwa Mugabe n’agamba nti Mugabe abadde omu ku bataata b’eggwanga era empagi mu kununula Zimbabwe.

 bubaka bwa naganwa ku mukutu gwa witter Obubaka bwa Mnaganwa ku mukutu gwa Twitter.

 

Mugabe yazaalibwa nga February 21 1924, mu Rhodhesia nga bwe yayitibwanga mu biseera ebyo.

Yasibwa okumala emyaka 10 awatali kuwozesebwa olw’okuwakanyanga enkola za gavumenti eyaliko mu 1964.

Mu 1973, ngali mu kkomera yalondebwa okuba pulezidenti w’kibiina kya Zimbabwe African National Union (Zanu), era yali omu ku baakitandikawo.

Alese abaana bana n’omukyala Grace Mugabe gwe yawasa mu 1996 oluvannyuma lwa mukyala we eyasooka Sabina Mugabe okufa mu 1992.

 ugabe ne mukyala we race Mugabe ne mukyala we Grace

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza