TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Rema engoye z'omukolo gwe wakuziggya Turkey ne Buyindi

Rema engoye z'omukolo gwe wakuziggya Turkey ne Buyindi

By Martin Ndijjo

Added 6th September 2019

“Rema mukazi mwambazi nnyo. Era y’omu ku bamanyiddwa abakwata ekifo ky’oku mwanjo mu bassereebu abambazi. Tayagala kwambala ngoye zigeraageranyizibwa ku z’abalala. Ayagala kikye yekka”, Ssentebe w’olukiiko olutegesi lw’okwanjula kwa Rema, Hajji Issa Musoke bwe yategeezezza.

Rema1 703x422

Rema engoye agenda kuziggya bweru.

Bya MARTIN NDIJJO, RUTH NAZZIWA NE LAWRENCE KITATTA

REMA asazeewo ebyambalo by’anaabeeramu ku kwanjula okubyenonera ebweru. Okwanjula kwa Rema ne Hamzah Ssebunya kujja kubaawo November 14, 2019 e Nabbingo ku lw’e Masaka.

Rema yataddewo obukiiko obw’enjawulo okukwanaganya omukolo. Akakiiko akakola ku kwambala kaakoze okunoonyereza mu maduuka g’ebbeeyi mu Kampala n’okutuukirira abalagiriza ebintu okubireeta ne kabulwamu engoye eziggyayo omutindo Rema kw’ayagala okutambuliza omukolo gwe.

“Rema mukazi mwambazi nnyo. Era y’omu ku bamanyiddwa abakwata ekifo ky’oku mwanjo mu bassereebu abambazi. Tayagala kwambala ngoye zigeraageranyizibwa ku z’abalala. Ayagala kikye yekka”, Ssentebe w’olukiiko olutegesi lw’okwanjula kwa Rema, Hajji Issa Musoke bwe yategeezezza.

N’agamba nti baasazeewo Rema agende yenoonyeze, yeerondere era yeesasulire engoye z’anaayambala ku mukolo.

 r abrina akeera itaka ku kkono nga bamukwasizza kaadi akati ye sebunya ne r hereza iloya Dr. Sabrina Bakeera Kitaka (ku kkono) nga bamukwasizza kaadi. Wakati ye Ssebunya ne Dr. Thereza Piloya.

 

“Twafunye dizayina(soma designer) omukugu mu by’okwambala eyakoze bajeti y’okwambaza Rema, ebirabo n’ensabika yaabyo, okutimba, eby’okwewunda n’ebirala. Agenda kulinnya ennyonyi ne Rema bagende mu Turkey (Butuluuki) gye banaava okweyongerayo e Buyindi bagule ebyambalo”, Issa Musoke bwe yategeezezza.

Kigambibwa nti okuva Rema ne Ssebunya lwe bakkaanya okukola omukolo gw’okwanjula, Rema ne mikwano gye bawaddeyo obudde okutunuulira okwanjula okuzze kukolebwa okw’amaanyi okuli abaana b’abagagga b’omu Kampala ne Bassereebu nga Bobi Wine, Jose Chameleone n’abalala.

Issa Musoke yagambye nti bategeka Rema asitule ku nkomerero ya wiiki eno, kyokka kirabika bajja kugenda wakati mu wiiki ejja.

Yagambye nti omukolo gwa Rema tegujja kubeerako nkiiko za kusonda ssente.

Omu ku mikwano gya Rema yagambye nti “Ensimbi ezeetaagisa weeziri. Kyokka bwe twalangiridde waliwo mikwano gya Rema n’abawagizi abaavuddeyo nga baagala okuwaayo ssente.

Abo tujja kubayita mu October okubanjulira enteekateeka. Bwe tunaabayita olwo batuwe ne ssente”, bwe yagambye. 

Ebirala ebikwata ku Hamzah Ssebunya

OMUKULU w’eddwaaliro ly’abakyala ery’e Mulago – Kawempe, Dr Evelyn Nabunnya atangaazizza ku byogerwa nti Ssebunya akola nga Dokita w’abakyala (gynecologist) e Mulago era yajjanjabako Rema ng’ali lubuto.

Yagambye nti Ssebunya tebamulina ku basawo abajjanjaba abakyala.

Bukedde yazudde nga Ssebunya yasoma kukebera musaayi n’ebirala mu laabu (soma laboratory). Yafuluma mu ttendekero nga “laboratory technician) n’akola okutuusa mu 2013. Era wano we wava eky’okumuyita Dokita. Kyokka yasaba asome Obusawo e Makerere n’akkirizibwa. Kati yaakamaliriza era yassiddwa ku lukalala lw’abayizi abaasindikiddwa okugenda mu malwaliro ag’enjawulo okussa mu nkola bye babadde basoma (internship).

N’olwekyo Ssebunya tabadde Dokita, kyokka bwe yamalirizza okusoma kati alina ekisaanyizo kya Dokita.

Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasawo ekya Uganda Medical Association, Dr Ekwaro Obuku yagambye nti abasawo bagwa mu biti bisatu. Kyokka abamu wadde baliko emirimu gye bakola mu malwaliro, tebasaana kuyitibwa Dokita. Ng’oggyeeko abasawo b’ekinnansi abeeyita Badokita, mu malwaliro eyandibadde Dokita y’oyo asomye okujjanjaba, abalala bonna okuli abakebera omusaayi, abasomye eby’okugaba eddagala abo tebasaana kuyitibwa Dokita.

Era okubeera Dokita waliwo ekibiina ekigaba ebbaluwa ezikkiriza abasawo okukola nga bamaliriza okusoma ekya Uganda Medical and Dental Practitioners council, ekiteekwa okukukakasa ne kikuwa ebbaluwa.

 aadi eyita abagenyi ku mukolo Kaadi eyita abagenyi ku mukolo.

 

Omu ku basomesa ba Ssebunya, Dr. Sabrina Bakeera Kitaka yagambye nti “Ssebunya mbadde musomesa we mu Medical School e Mulago era emisomo yagimalirizza bulungi. Yakuguse mu kujjanjabisa eddagala n’okulongoosa (medicine and surgery ) era obukugu bw’alina bumusobozesa okukola buli kimu.

Dr. KItaka yeekubisizza ebifaananyi ne Ssebunya eyamutwalidde kaadi emuyita ku kwanjula kwe ne Rema.

Ssebunya mutabani w’omugenzi Ahmed Kibirige eyali Ssentebe wa Bannayuganda abasuubulira e Dubai. Kyokka maama wa Ssebunya abeera Kirinya- Bweyogerere. Mu maka gano, Ssebunya gye baabawoowera ne Rema nga beetegekera okutandika ekisiibo (Ramadhan) mu May 2019.

Kyokka Hajati (azaala Ssebunya) yagaanyi aba Bukedde okuyingira ewuwe.

Ssebunya alina omwana omu.

Okutwala Rema yasooka kusuulawo mukazi we gwe yakuba embaga ayitibwa Betty kyokka ono si y’azaala omwana wa Ssebunya.

Ssebunya asula Namugongo gy’alina amaka. Alina bizinensi y’okutunda ebikozesebwa abasawo eri ku Johnson Street.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....