TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mugabe amaze emyezi etaano mu ddwaaliro e Singapore nga bamujjanjaba

Mugabe amaze emyezi etaano mu ddwaaliro e Singapore nga bamujjanjaba

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2019

Mugabe afudde yaakamala emyezi etaano mu Gleneagles Hospital, e Singapore gy’abadde ajjanjabirwa.

Unity 703x422

Yatwalibwayo mu April 2019 oluvannyuma lw’okusooka okumuleetera dokita we eyamujjanjabirako awaka e Harare mu Zimbabwe; wabula oluvannyuma n’awabula nti beetaaga okumwongerayo e Singapore.

Mu kiseera we yabeerera Pulezidenti nga tannawambibwa magye mu November wa 2017, Mugabe era yali ajjanjabirwa mu Gleneagles Hospital, Singapore era obulwadde bwa lubyamira bwe bwasinganga okumutawaanya.

Olumu yagendangayo mu nkukutu era yawakanyanga nnyo amawulire agaawandiikibwanga nga galaga nti yagenze okujjanjabwa.

Kigambibwa nti ng’oggyeeko Lubyamira aludde ng’amutawaanya, Mugabe abadde yafunamu ne puleesa era nti okutawaanyizibwa puleesa, kweyongera mu November wa 2017 mu kiseera we baamuwambira.

Abamu kw’ekyo kwe baasinzidde okugamba nti ssinga abadde akyali Pulezidenti osanga n’emyaka 100 gye yayogerangako yandigiwezezza ng’akyafuga Zimbabwe.

Mu ndwadde ezo nti ate kweyongerako ne Sukaali nti era y’abadde avaako omubiri okuzimba naddala mu maaso, ebigere n’engalo.

Abadde atawaanyizibwa n’okusannyalala era kigambibwa nti kwe kwamuviirako okulemwa okutambulira ne bamussa mu kagaali.

Gavumenti ya Mnangagwa yeeyaama okujjanjaba Mugabe n’okumulabirira wamu ne famire ye era olupapula lw’amawulire olw’e Zimbabwe oluyitibwa The Herald lwalaze nti gavumenti y’ebadde ekola ku by’obujjanjabi bwa Mugabe okuva lwe yaggyibwa mu buyinza era n’ebisale by’eddwaaliro e Singapore, byonna be babikozeeko.

Gavumenti ya Zimbabwe era y’egenda okukola ku by’okutambuza omulambo okuguggya e Singapore era ekole ne ku by’okuziika byonna.

Olupapula lwa The Herald lwategeezezza nti abakungu mu gavumenti ya Zimbabwe baatudde amangu ddala nga Mugabe yaakafa okuteesa ku nteekateeka z’okuziika nga bakolaganira wamu ne famire y’omugenzi.

Mugabe asuubirwa okuziikibwa mu bitiibwa ebijjuvu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....