TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obwegassi bwe bugenda okubbulula ebyenfuna bya Buganda

Obwegassi bwe bugenda okubbulula ebyenfuna bya Buganda

By Dickson Kulumba

Added 7th September 2019

“Okukolera awamu kwe kusobola okukyusa ebyenfuna by’abantu nga bwe mumanyi obwegassi bwayitimula nnyo Buganda. Omuntu omu tosobola kukola bintu bino byonna, asobola okukaluubirizibwa,” Hajji Kakomo bwe yagasseeko.

Kakomobwegassi1 703x422

David Lukwata (awanise omukono) akulira emirimu mu Kibinge Coffee Farmers' Co-operative Society Ltd ng'aliko by'alengeza Minisita omubeezi ow'ebyobulimi e Mmengo, Hajji Amisi Kakomo ebikolebwa ekibiina kino. Emabega waabwe kye kizimbe omugenda okubeera ekyuma ky'emmwaanyi eky'ekibiina kino ku kyalo Misanvu- Bukomansimbi.

MINISITA omubeezi ow’ebyobulimi, obulunzi, obwegassi n’obutale e Mmengo, Hajji Amisi Kakomo agambye nti obwegassi bwokka bwe bugenda okuddamu okutumbula eby’enfuna by’abantu ba Buganda.

Bino yabyogedde akyalidde abeegassi mu ssaza ly’e Buddu ku wiiki ewedde ng’eno  gye yatandikidde  enteekateeka eneemutuusa mu masaza ga Buganda gonna ng’alaba engeri ebibiina by’obwegassi eby’enjawulo gye bitambuzibwamu ate n’okuwa abantu amagezi ku ngeri gye biyinza okutandikibwamu ne biwangaala.

“Tutandika okutalaaga Obwakabaka bwonna okuteeka ekiragiro kya Kabaka eri abantu be okutandika ebibiina by’obwegassi. Tutandikidde ku kukyalira ebyo ebitandikiddwawo era nga birina kye biraga tulabe oba bisobola okweyambisibwa okutandikawo ebirala ng’ekyokulabirako,” Hajj Kakomo bwe yayogedde ku nteekateeka eno.

Bwe yabadde ku Lwengo Development Sacco ekirina bammemba 2300 e Kinoni mu disitulikiti y’e Lwengo, yakubirizza abantu ba Buganda okukola ennyo kubanga kino kyakubawonya omuze gw'okusabiriza ate kubawe embavu mu by'ensimbi okwetuusaako ebyetaago mu bulamu.

“Okukolera awamu kwe kusobola okukyusa ebyenfuna by’abantu nga bwe mumanyi obwegassi bwayitimula nnyo Buganda. Omuntu omu tosobola kukola bintu bino byonna, asobola okukaluubirizibwa,” Hajji Kakomo bwe yagasseeko.

Minisita Kakomo n’ekibinja kye okwabadde Ibrahim Kirwana ng’ono y’avunaanyizibwa ku nsonga z’obwegassi e Mmengo, Sam Muwanga nga mukungu mu BUCADEF bwe babadde balagibwa ebikolebwa aba Kibinge Coffee Farmers’ Co-operative Society Ltd. ku kyalo Kyabiiri mu ggombolola y’e Kibinge- Bukomansimbi yakubirizza abantu okwegattira mu mirimu egyo gye bakola.

“Aba Kibinge muli kyakulabirako mu bulimi bw’emmwaanyi era muyambye ku gavumenti ya Kabaka ku nteekateeka ya ‘mmwaanyi terimba.’ Abantu basaanye okubalabirako balime emmwaanyi kuba mulimu ensimbi nnyingi ate bw’ozigattako omutindo, ofunira ddala nga Kibinge bw ebakola. Ntwala omukisa guno okukubira abantu ba Buganda omulanga okunywa kaawa akolebwa mu mmwaanyi ezikolebwa wano nga n’owa Kibinge kwaali,” Hajji Kakomo bweyagambye.

Aba Kibinge Coffee balina ba mmemba abasoba 2000 nga bano balima emmwaanyi n’okuzigattako omutindo ate n’okuzisuubula ebweru, balina ekibiina ekitereka ensimbi n’okuziwola.

Okusinziira ku David Lukwata nga y’akulira emirimu mu Kibinge Coffee yategeezezza ng’ekitongole ekiwola ensimbi bwe kirina ensimbi obukadde 229 ezitambuza bizinensi, obukadde 395 eziterekeddwa bammemba ate n’obukadde 639 eziwoleddwa.

“Ekibiina kino kyakamala emyaka 24 era ezimu ku nsonga ezikiyambye okuba nga kati kikyali kya maanyi kuliko okukulembeza obwerufu, omutindo ssaako n’okukozesa abakugu. Mu kiseera kino tuli mu kuzimba ekyuma eky’omulembe ekisunsula emmwaanyi ate n’ekizimbe ekirala awagenda okukozesebwa okugatta omutindo ku mmwaanyi zino,” Lukwata bwe yayongeddeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...

Kawesi 220x290

Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde...

Bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.