TOP

Obukenuzi bwa Grace ne Robert Mugabe ne

By Musasi wa Bukedde

Added 8th September 2019

Omukago gwa Bulaaya bwe gwamuteekako natti okuva mu 2002 embeera y’okwejalabya n’ekendeera.

Pg32mugabe1reuters 703x422

Bamugabe

Omwaka gwa 2014, Grace yayita abawagizi be e Mazowe mu Harare n’abamatiza nti ebyo bye bagamba nti bba alina obulindo bw’ensimbi bya bulimba.

Bino yabyogera bayimiridde mu maaso gaamayumba amatiribona g'azimbye n’ategeeza abantu nti Mugabe ye pulezidenti asembayo okubeera omwavu mu nsi yonna. Era tamulabangako ng’asaba omuntu yenna ssente.

Yafumbirwa Mugabe mu 1996 ku mbaga kwe baasasaanyiza obulindo bw’ensimbi era yayongera okwewuunyisa bannansi bwe yakwata ssente gavumenti ze yali etaddewo okulaba nga bakendeeza ku nsimbi ze basasaanya nga basasulira awookusula ye n’azizimbamu ennyumba ya bisenge 30 n’agituuma ‘Graceland’.

Ekwata omwami tereka muganzi, ono teyakoma ku nnyumba, yasikiriza bba Mugabe n’asasaanya 28,000,000,000/- okumuzimbira Olubiri e China. Olumu yalinnya ennyonyi n’agenda e Bufalansa n’agula emigogo gy’engatto 3,000 ku ssente za Uganda 560,000,000/-.

Grace Mugabe ensimbi tazeeguya newankubadde nga bannansi bangi beeyaguza luggyo, amayinja ag’omuwendo agaawunda awakawe yagalagiriza Vietnam ku ssente 310,800,000/-, gaalubindi z’omusana n’essaawa z’asiba zigula bukadde.

Muwala wa Mugabe Bona bwe yali afumbirwa, kigambibwa nti baagana abakuba ebifaananyi okukwata ebiraga eby’obugagga bwabwe. Mutabani waabwe Bellarmine Chatunga yatadde ekifaananyi ky’essaawa ya ddoola za Amerika 60,000 n’ateekako obubaka nti, bino by’oganyulwa nga kitaawo afuga ensi.

Balina amaka e Hong Cong, Grace alagiriza empeta za diamond ez’ebbeeyi okuva ebweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.