TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasuubuzi b’ewa Kisekka batandise okuyingira amaduuka amapya

Abasuubuzi b’ewa Kisekka batandise okuyingira amaduuka amapya

By Joseph Mutebi

Added 8th September 2019

ABASUUBUZI b’ewa Kisekka 174, bannannyini maduuka agawedde ku Block A, babuukira waggulu oluvannyuma lw’okutandika okugakoleramu era bakasitoma baabwe ab’enjawulo baatandise dda okubagulako.

Lisekka 703x422

Yusuf Wangi omusuubuzi w’ewa Kisekka (ku ddyo) ng’alaga edduuka lye yayingidde.

“Katonda kye yakkirizza nti kya kubeerawo omuntu ne bw’akirwanyisa era kimaliriza nga kikyo, nneebaza abasuubuzi abaalengerera ewala ne bakkiriza okuteeka ssente zaabwe mu nkulaakulana ne batakkiriza kubabuzaabuza nti kati essaawa eno batandise okukungula” Ssentebe w’akatale kano Robert Kasolo Kisembo bwe yategeezezza.

Bakira Kasolo ayogera bino ng’eno abasuubuzi baguza bakasitoma baabwe mu maduuka gabwe amapya ng’ate abalala bapangayo bintu.

Akulira omulimu gw’okuzimba akatale k’ewa Kisekka okuva mu kkampuni ya ROKO, Ying Allan Muganzi yategeezezza nti kituufu amaduuka 174, gawedde era abasuubuzi abasinga twamaze dda okugabakwasa wadde kino kirina bwe kitaataaganyizza omulimu gwaffe naye tulina okukolera mu mbeera yonna.

Wabula buli dduuka lye bayingira tulina okumala okulibakwasa mu butongole.

Ssentebe Kasolo yagambye nti ekkula lino lye batuuseeko limusanyusizza nnyo wadde agenze okukizuula ng’abasuubuzi, be basinga okubeera abasanyufu kubanga bakizudde nti twabagambanga mazima.

Ye omwogezi w’akatale kano Simon Peter Lubwama yategeezezza nti Block A, k’ewedde kati bali ku Block B, era emitayimbwa n’embaawo byayingiddewo dda ng’abasuubuzi bwe banaayongera okusasula ssente amaduuka amalala 356, nago gagenda kubakwasibwa mu myezi mukaaga egijja.

Yayongeddeko nti buli mwaka okuva 2012 babaddenga basasula ssente za ‘Ground rent’ buli mwaka obukadde 76, nga balooya emisango egitaggwa baakatwala obukadde nga 400 n’endala nnyingi ezisasuddwa ku bintu ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...