TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Pulezidenti Museveni asuubizza abasomesa omusaala omusava

Pulezidenti Museveni asuubizza abasomesa omusaala omusava

By Muwanga Kakooza

Added 9th September 2019

PULEZIDENTI Museveni agumizza abakozi ba gavumenti naddala abasomesa nti waliwo essuubi ly’okutandika okufuna omusaala omusava okuva kkooti bwe yagaanyi ababaka ba palamenti okuddamu okwegerekera emisaala.

Soma 703x422

Pulezidenti Museveni ng’assa omukono ku cceeke ya bukadde 50 ezinaaweebwa abasomesa 50 abasinze okusomesa obulungi. Yabadde mu lukuhhaana lw’abasomesa ba pulayimale olwa National Primary School Teacher’s Conference olwategekeddwa ku ssomero lya London College of St. Lawrence e Maya mu Wakiso ku Lwomukaaga.

Museveni era alabudde abasomesa abamu abakongolera mu mirimu n’agamba nti Katonda ajja kuwa empeera abo abakola omulimu guno mu mutuufu bwagwo era n’omutima gumu kuba obusomesa ‘kirabo’ okuva ewa Katonda.

Bino yabyogeredde ku ssomero lya St. Lawrence College, London Campus e Maya mu disitulikiti y’e Wakiso ng’ali mu lukung'aana lw’abasomesa olumaze ennaku essatu nga luyindira ku mulamwa: “Abasomesa ab’omutindo balina enkizo.’’

Museveni yawadde ebirabo eri abasomesa 50 abasinga bannaabwe okukola omulimu guno n’abawa ne cceeke ya bukadde 50.

Ku bano abasomesa basatu abaasinze bannaabwe baaweereddwa 1,000.000/- buli omu. Yagambye nti oluvannyuma lwa kkooti okugaana ababaka ba palamenti okuddamu okwegerekera emisaala, abakozi ba gavumenti bajja kufuna akalembereza nabo bafune ku misaala egyegasa.

Yasabye abasomesa okukola emirimu awatali kwebalira n’agamba nti ye ne banne baaganyulwa nnyo mu basomesa olw’okuba (abasomesa) baakolanga obuteebalira mu kiseera ekyo.

Yeebazizza abasomesa abeemalidde ku kukola omulimu guno wadde embeera gye balimu ssi nnungi n’abagumya nti ebintu bijja kulongooka.

Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni, yeebazizza abasomesa olw’olukuhhaana luno n’agamba nti abasomesa basatu abasinze bannaabwe bajja kutwalibwa e Yisirayiri okulambula babeeko bye beeyongera okuyiga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...