TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyeefumbiza owebijambiya amwefuulidde n’amutema

Eyeefumbiza owebijambiya amwefuulidde n’amutema

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2019

OMUWALA eyeewaggula ku bazadde be ne yeefumbiza omulenzi agambibwa okubeera mu kibinja ky’abeebijambiya amwefuulidde n’amutema n’adduka ng’alowooza nti amuse.

Brenda 703x422

Ssenoga ne Nantaba

Ruth Nantaba 16, apooca na biwundu mu ddwaaliro erimu e Busega gye baamusuula oluvannyuma lw’okumutemaatema.

Ono twamusanze ne nnyina Night Mbekeka nga bibasobedde. Nantaba yenna ajjudde ebiwundu ku mutwe, emikono, mu mugongo, mu nsingo n’awalala we yagambye w’atasobola kulaga.

Agamba nti, ebiwundu bino, byamutuusiddwaako bba, Patrick Ssenoga oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya n’atiisatiisa okumuloopa mu boobuyinza ku bikolobero by’azze akola.

Yagambye nti, Ssenoga y’omu ku babbi abatigomya ebyalo e Luweero, ali mu kabinja k’abeebijambiya abatemaatema abantu ne babaggyako ssente n’ebyomu nnyumba.

Yagambye nti, yasooka kubeera mubbi anyakula obusawo mu katale e Wobulenzi wabula oluvannyuma lw’okumukwata enfunda eziwera, abasuubuzi mu katale baamugoba nga bamukubye bubi nnyo ne bamusuubiza okumutta singa baddamu okumulaba mu katale.

Agamba nti, bwe yawona yasalawo okulinnyisa eddaala n’atandika okubbisa ebijambiya kyokka engeri gye baali baagalana ennyo, ebikolwa bya bba teyabifangako.

Gye buvuddeko, bba ne banne, baabadde ku kasiki e Nakaseke ne batemaatema abantu ne bababbako amasimu, ssente, obusawo n’ebyomuwendo ebirala era wano, we baafunidde obutakkaanya.

Nantaba yakuttemu ebibye amuviire n’alekawo omwana waabwe ow’omwaka ogumu n’ekitundu n’agenda ewa jjajjaawe, kyokka yabadde akyali eyo, nnyazaala we, n’amukubira nti omwana mulwadde.

Wabula olwayingidde mu nnyumba ne baggalawo, olwo Ssenoga n’akwata eccupa n’agikuba ku kisenge n’eyatika n’akwatako ekitundu kye yamusaze ku matama, ensingo, emikono n’engalo ng’a bw’amugamba nti, ‘nnyabo oyagala kundoopa, ehhh… kankumalemu olugambo olwo...’

Kuno yagasseeko okumufumitafumita buli wamu okutuusa bwe yazirise era yazzeemu okutegeera ng’ali mu ddwaaliro e Busega.

Ab’eddwaaliro baategeezezza nti, abaaleese Nantaba baabadde abasajja basatu okwabadde ne Ssenoga wabula bonna olwamutuusizza ne bamusuulawo ne bagenda.

Nnyina wa Nantaba yagambye nti, muwala we yali asoma mu Sermon Primary School e Luweero ne yeewaggula oluvannyuma lw’okukwatagana n’ebbiina ly’abaana bakyewaggula.

Yagambye nti, baamwegayirira adde ku ssomero n’agaana era waayita ebbanga ttono yaddamu okumulaba ng’ali lubuto.

Yagambye nti, yayogera naye omwana n’amulaga nti ye ayagala kuzaala n’amwenenya.

Ssenoga ku poliisi gye twamusanze yagambye nti, Nantaba yamukwatira mu bwenzi n’omusajja omulala ate bwe yamugambako obusungu yabumalira ku mwana n’amwokya.

Kino kye kyamunyiizizza n’amusala nti kyokka ebiwundu ebimu, yagwa mu ccupa eyali eyatise nga balwana.

Ono poliisi yamuzzizzaayo e Luweero gye yaddizza omusango awali ne fayiro ye ey’okugezaako okutta omuntu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...