TOP

Ab’e Kalungu balangiridde amateeka amakakali

By Ssennabulya Baagalayina

Added 9th September 2019

ABOOBUYINZA mu Kalungu balangiridde ebiseera eby’akazigizigi mu disitulikiti ne bassaawo ebiragiro ebikakali ku batambula obudde obw’ekiro.

Kalu 703x422

Meeya Gerald Ssennyondo ng’ayogera mu lukiiko.

Bya Ssenabulya Baagalayina 
 
ABOOBUYINZA mu Kalungu balangiridde ebiseera eby’akazigizigi mu disitulikiti ne bassaawo ebiragiro  ebikakali ku  batambula obudde obw’ekiro. 
 
Kino kivudde ku ttemu erisitudde enkundi naddala ku  bavuzi ba bodaboda n’obubbi bw’ebintu ebitali bimu n’ebisolo awamu n’abateega abasuubuzi ekiro nga bannyuse.
    
Ebiragiro bye bataddewo
  •  Bamalaaya obutazibira basajja ababeesanyusirizaako ng’ekiro baliko ebibbe bye bakukusizza.
  •  Abachina b’omuceere mu Lwera, balagiddwa okuwa abakozi baabwe ebiboogerako nga bya njawulo okwongereza ku ndagamuntu.
  • Poliisi etukkize ebikwekweto ku nguudo zonna n’obubuga okulaba nga bataayiza buli mumennyi w’amateeka.
  •  Balandiroodi okwanjula abapangisa be basenzezza ku mayumba gaabwe n’ebiboogerako okuva gye bavudde.
  • Aba loogi obutasuza muntu yenna nga taggyiddwaako bimwogerako n’okwaza by’atambuliza mu bisawo.
  • Ab’ebikaali n’amabbaala obutakuba biddongo kusussa ssaawa 7.00 ez’ekiro n’ebimansulo biwereddwa.
  •  Aba LC okufuuzanga lunnye mu batuuze baabwe  bazuulemu abeesenzezaamu nga tebamannyiddwa era alipooti baziwengayo mu ofiisi ya RDC.
  • Abatambula ekiro nga zisusse essaawa 7.00,singa batamattama mu kwennyonnyolako bajja kusuzibwa mu kaddukulu ka Poliisi.
  • Abakulira ababodaboda babawandiikenga n’okulondoola ebibakwatako byonna.
  •  Abakeera okuzannya ppuulu, bbetingi n’amabbaala bawereddwa bunnambiro kuba ssente  ze batwalayo ziriko akabuuza.
 Bino  baabyanjulidde mu lukiiko lw’ebyokwerinda lwe batuzizza e Lukaya nga lwakuliddwa amyuka RDC, Hajat Sarah Nannyanzi, DPC ASP Abraham Tukundane, Meeya Gerald Majera Ssennyondo ne OC w’e Lukaya ASP Vienne Birungi.
 Abatuuze balwambaliddemu Meeya Ssennyondo nti akomye okubeewaanirangako n’okubatiisatiisa nti muserikale amannyi emmundu n’atabakwatira bamenyi b’amateeka babatigomya.
 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...