TOP

Ebipya ku by'okufa kwa Mugabe

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2019

“Neegatta ku bantu b’e Zimbabwe n’Abafirika mwenna okukungubagira okufa kwa mutabani wa Afrika ono. Awummule mirembe," Museveni bwe yagambye mu bubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa Twitter.

7038930024052008497674568541190973797957632o 703x422

PULEZIDENTI Museveni akungubagidde abadde mukulu munne Robert Mugabe eyaliko Pulezidenti wa Zimbabwe eyafiiridde ku myaka 95 n’agamba nti abadde mununuzi era omwagazi w’obwa sseruganda bw’Abafirika.

“Neegatta ku bantu b’e Zimbabwe n’Abafirika mwenna okukungubagira okufa kwa mutabani wa Afrika ono. Awummule mirembe’’ Museveni bwe yagambye mu bubaka bwe yatadde ku mukutu gwe ogwa Twitter.

Yeegattiddwaako sipiika Rebecca Kadaga naye eyagambye nti omugenzi abadde mununuzi w’e Zimbabwe ne Afrika era akoleredde ennyo okununulwa kw’abaddugavu. Mugabe yafiiridde Singapore ng’atemera mu myaka 95 era mukazi we Grace,55,eyali omuwandiisi mu ofiisi ye yamubadde ku lusegere.

 

 mugabe Robert Mugabe eyafudde

 

Mugabe afudde akukkuluma

Ku kyalo KUTAMA, e Zimbabwe  Mugabe gye yakulira bagamba nti afudde akukkuluma olw’okumugoba mu buyinza ku kifuba. Omu booluganda lwe, Leo Mugabe yagambye nti omugenzi tabadde musanyufu ku ngeri gye yagobwa mu buyinza bwe yali amazeemu emyaka 37 n’awambibwa amagye.

Wakyaliwo okusika omuguwa ku gy’anaaziikibwa:

Abaamubadde ku lusegere ng’afa okwabadde  ne mukazi we Grace bagamba nti yabadde yafuuka nga mwana muto nga takyalina k’yasobola kwekolera.

Kyokka nga tannalekera awo kwogera yagamba  nti ayagala kuziikibwa kumpi ne nnyina ku kyalo Zvimba kiromita 60 okuva mu kibuga ekikulu Harare era aziikibwe bantu ba lubatu naddala ab’enganda ze. Wabula gavumenti ya Zimbabwe eyagala aziikibwe   ku kijjukizo ky’abazira ekya Zimbabwe awazimbibwa edda entaana ye (eya Mugabe) era nga wano  mukazi we eyasooka Sally we yaziikibwa era waliwo n’ekifo ekirala awalina okuziikibwa Grace eyali asuubirwa okumusikira ku bwa Pulezidenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja