TOP

Omubbi katono amagi 3 gamutwaze e kaganga

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2019

Shafik Muhangi 25, yasimattuse okugajambulwa abatuuze oluvannyuma lw’okusooberera amagi ga Mugisha asiika chapati mu kitundu kino n’agabba.

Kawanda 703x422

Ku kkono ye OC w'e Kawanda, Raimond Odongo n'abaserikalle abalala nga batwala Muhangi eyakubiddwa mu ddwaaliro.

BYA WASSWA B. SSENTONGO


POLIISI y’e Kawanda eyitiddwa bukubirire okutaasa omuvubuka abatuuze gwe baabadde baagala okutta oluvannyuma lw’okuyingira mu nnyumba ya mutuuze munnaabwe n’abba amagi g’enkoko asatu.

Shafik Muhangi 25, yasimattuse okugajambulwa abatuuze oluvannyuma lw’okusooberera amagi  ga Mugisha asiika chapati mu kitundu kino n’agabba.

Mugisha yabadde agenze kugula manda we zireetedde Muhangi n’atandika okulonda amagi ng’agateeka mu kaveera aka kiragala wano ne nnannyini magi w’atuukidde era bw’amulabye n’akuba enduulu ababadde okumpi ne bamugoba ne bamukwata ne batandika okumukuba ng’abadde yakateekamu amagi asatu (3) gokka.  Babadde bakyamukuba poliisi w’etuukidde wabula ng’akubiddwa bubi nnyo.

Atwala poliisi y’e Kawanda, Raymond Odongo avumiridde eky’abatuuze okukoma okutwalira amateeka mu ngalo n’agamba nti bandibadde bamuleeta ku poliisi n ebazuula oba ddala omusajja ssi mubbi era poliisi esoose kumutwala mu ddwaaliro lya Kawanda Healthy Centre II basooke bamujjanjabe ng’okunonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...