TOP

Ab'e Kasangati balaajanye ku musolo gw'amayumba

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2019

Sseguya yannyonyodde nti omusolo ku mayumba mu kitundu gwagerekebwa bubi olw'ensonga nti abaagerekanga oluusi baatwalirangamu n'emizigo egimu wadde nga gisulamu baana b’awaka n'agamba nti kino kisaana okutulwamu

Francissseguya6 703x422

Francis Sseguya

James Magala

BANNANNYINI mayumba agapangisibwa mu Kansanga mu munisipaali y'e Makindye balaajana  olw'omusolo gw’amayumba  nga bagamba nti omusolo  munene nnyo nga gutuuse n'okubagobako abapangisa.

Okusinziira ku Ssentebe w'omuluka gw'e Kansanga, Francis Sseguya, bannannyini mayumba mu Kansanga batuuse n'okwetamwa amayumba gaabwe ge baazimba okufunamu ssente nga bagamba nti omusolo ogwagateekebwako munene nnyo okusinziira ku ssente eziva mu mayumba gano.

Sseguya yannyonyodde nti omusolo ku mayumba mu kitundu gwagerekebwa bubi olw'ensonga nti abaagerekanga oluusi baatwalirangamu n'emizigo egimu wadde nga gisulamu baana b’awaka n'agamba nti kino kisaana okutulwamu.

Ono yagambye nti omusolo guno tegukoma ku kukosa bannannyini mayumba bokka wabula n'abapangisa era nga wano yanokoddeyo abaana abasomera mu Yunivasite ez'enjawulo ezisangibwa mu Kansanga. Yalaajanidde be kikwatako okusala amagezi mu bwangu ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja