TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssemaka abadde azze okuwulira omusango gwa mukyala we akutukidde mu kkooti

Ssemaka abadde azze okuwulira omusango gwa mukyala we akutukidde mu kkooti

By SHAMIM NABUNNYA

Added 10th September 2019

EYAWEREKEDDE mukyala we mu kkooti akutukide mu maaso g’Omulamuzi omuvubuka bwe yeesimbye mu kaguli n’alumiriza omukyala nti yamukuba.

Unity 703x422

Nnamwandu Kizito (mu maaso) ng’annyonnyola engeri bba (mu katono ku ddyo) gye yafuddemu.

Kkooti y’e Makindye yayimiridde mu mbeera etali ya bulijjo omukyala bwe yabuuse mu kaguli ataase bba gwe yalengedde ng’agudde kyokka bagenze okumukwatako ng’entunnuusi tezikyakuba.

Ephraim Kizito 60, ow’e Nabutiti - Kansanga mu Munispaali y’e Makindye yabadde awerekedde mukyala we Rosemary Kizito 53, eyabadde avunaanibwa okukuba William Egesa.

Abaabadde okumpi ne Kizito baategeezzza nti Egesa bwe yatandise okulumiriza Muka Kizito, Kizito n’atandika okwewujja ng’alina ebbugumu eringi era ekyaddiridde kunogoka n’agwa wansi olwo mukyala we eyabadde mu kaguli n’abuuka aggye okumuyamba.

Omusango gwabadde mu maaso g’Omulamuzi John Robert Okipi ow’eddaala eryokubiri ku kkooti e Makindye ng’oludda oluwaabi luleese Egesa abuulire kkooti kw’ebyo ebyaliwo ku bigambibwa nti muka Kizito yamukuba.

Ssaawa zaabadde zikunnukkiriza malya ga kyamisama, Kizito we yafiiridde era kaabadde kasattiro abakozi ku kkooti nga bibasobedde beebuuza ekyokukola wakati mu miranga n’okwaziirana okuva mu booluganda lwa Kizito abaabadde bazze okulaba ogubadde.

Poliisi y’e Katwe yayitiddwa bukubirire okujja okuyambako okutwala omulambo e Mulago okwekebejjebwa okunoonya ekiuufu ekyamusse.

Omulamuzi Allan Gakyaro omu ku balamuzi ku kkooti y’e Makindye yategeezezza nti Kizito yafudde kikutuko nga kigambibwa nti yabadde n’obulwadde obwabadde bumutawaanya obuyinza okuba nga bwe bwamusse.

Gakyaro yategeezezza nti abantu abaabadde ku kkooti baagenze okumuyoolayoola okumuggya mu kkooti kyokka bagenze okumutuusa wabweru ng’amazze okufa.

Kigambibwa nti abadde yaakawummula emirimu gye ng’abadde akolera mu bbanka Enkulu era nga y’omu ku beeyimirira mukazi we okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti ku musango ogumuvunaanibwa ku fayiro nnamba MAK/00/CO. No 928 /2019.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigire yategeezezza nti Kizito yafuddde kibwatukira era omulambo gwatwaliddwa e Mulago okwongera okwekebejjebwa oluvannyuma guweebwe abooluganda baguziike.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa essiga eddamuzi nga kiteereddwaako omukono gw’omuwandiisi wa kkooti, Esta Nambayo, essiga eddamuzi lyakakasizza okufa kwa Kizito mu kkooti e Makindye ne bategeeza nti Kizito kituufu yafiiridde mu kasenge ka kkooti y’Omulamuzi Okipi.

Baayongeddeko nti Kizito omulambo gwa Kizito gwakwasiddwa aba poliisi mu maaso g’abooluganda ne gutwalibwa e Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...