TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ettemu ku lw’e Ntebe; Kkamera ziraze entambula y’emmotoka y’abagenziSsemaka

Ettemu ku lw’e Ntebe; Kkamera ziraze entambula y’emmotoka y’abagenziSsemaka

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2019

KKAMERA za poliisi ziraze ebyaliwo mu kiro mwe baakubidde omukazi n’omusajja amasasi ku luguudo olupya olwa Ntebe Express Way ne babattirawo.

Unit 703x422

Emmotoka mwe baabattira yeetawula ku luguudo olwo enfunda nnya era oluvannyuma n’esimba ku lutindo lw’e Nambigirwa, abatemu we battira Joshua Nteireho Rushegyera n’omukazi Merina Kamikazi Tumukunde.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti Joshua ne Merina amasasi gaabakubwa bukubwa, tewali kabonero konna kalaga nti be beekuba amasasi ng’abamu bwe babadde bakiteebereza.

Ebiwundu ebyasangiddwa ku mulambo, poliisi kwe yeesigamye okukakasa nti omutemu yabalumba bulumbi n’abakuba ng’ali mu kabanga katonotono okuva ne we baali.

“Twagala okumenyawo ebiyitihhana nti Joshua ne Merina bandiba nga be betta kuba okusinziira ku biwundu by’amasasi ebiri ku mirambo biraga nti waliwo eyabakuba amasasi mu kiseera kino anoonyezebwa.” Enanga bwe yagambye.

Yagambye nti abeekebejjezza emirambo gy’abagenzi baazudde nti Merina essasi lya mukwata ku ludda olwa ddyo ku nsingo ne lifulumira ku ludda lw’ettama olwa kkono ate ye Joshua essasi lyamukwasa ku ludda lw’ettama erimu ne lifulumira ku ludda olulala nga tekisoboka muntu kwekuba yekka essasi ku ttama; yadde nga yasangibwa n’emmundu.

Enanga yagasseeko nti engeri mmotoka gye yasangibwamu eraga nti wandiba nga waliwo abaagiyimiriza kuba yasangibwa eyimiridde nga n’amataala kwegali era ng’etokota ekiraga nti wandiba nga waliwo eyabayimiriza n’akuba amasasi 3 nga ku gano erimu yalikuba omukazi ate eddala n’alikuba omusajja eyali alabika ng’eyali agezaako okudduka.

Okumanya ebisinga kw’ebyo, bagenda kwongera okwetegereza ebifaananyi bya kkamera ebirala okulaba oba banaafuna ekiraga engeri emmotoka gye yayimirira n’abaakuba amasasi.

KKAMERA ZIRAZE ENTAMBULA Z’EMMOTOKA MWE BAABATTIDDE

Enanga yagambye nti kkamera bbiri ez’oku luguudo lwa Ntebe Expressway okuli ey’e Kajjansi ne Ntebe ziraga nti mmotoka Joshua gye yali avuga Prado TX nnamba UAW 543B zagikwata emirundu ena wakati w’essaawa 2:00 ez’ekiro n’essaawa 4:30 ez’ekiro ky’Olwokutaano.

Yagambye nti okuzuula kino baamaze kwekenneenya n’okutunula ku kkamera ne bazuula nti emmotoka eno yasooka n’eraga ku lw’e Ntebe, n’emala n’ekomawo ate oluvannyuma n’eddayo e Ntebe ate n’emala n’ekomawo era ku mulundi ogwogukuna, gye baagenda gye baafunira obuzibu nga bali ku lutindo lw’e Nambigirwa.

Enanga yategeezezza nti kyandiba nga Joshua bwe yava ku Millennium Hotel e Zzana yasalawo okukozesa oluguudo lwa Ntebe Express nga kirabika waliwo eyamukubira essimu amusange wabula poliisi n’ezuula emirambo ku lutindo lwa Nambirigwa oluvannyuma.

Yagambye nti poliisi yakikakasizza nti Joshua yali agenda kugula mmotoka ekika kya Harrier ku Robert Ssuubi era nga ku lunaku olwo yali waakusasulako obukadde 25 nga n’ensawo ssente mwe zaali poliisi yagifunye.

Yagasseeko nti poliisi era yayongedde okunoonyereza n’ekwata abaserikale abalala babiri okuli Wilson Atwijuka ne Mugoto nga bano bakkiriza munnaabwe Davis Taremwa okubaleka ku mulimu n’agenda okuwerekera ku Joshua kyokka abaserikale abo ne batabuulira ku bakama baabwe nti munnaabwe avudde ku mirimu emitongole. Taremwa ye yasoose okukwatibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...