TOP

Embwa zitaayizza omukozi w’awaka ne zimutta

By SHAMIM NABUNNYA

Added 10th September 2019

EMBWA zigajambudde omukozi w’awaka ne zimutta ku lunaku lwe olwasoose nga yakatandika okukola mu maka ga Daudi Wakambi e Zzana mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo.

Lima 703x422

Poliisi ng’etwala omulambo gwa Mirembe e Mulago.

Ensisi yabaddewo ku nkomerero ya wiiki ewedde, Agnes Mirembe 43, baabadde bamuggye Buikwe akole emirimu gy’omu maka ewa Wakabi.

Mirembe yabadde akedde atandike obuvunaanyizibwa obwamukwasiddwa.

Yafulumye mu nnyumba ku ssaawa nga 11:00 nga bukya nga tamanyi nti zino embwa zaabadde nkambwe.

Olwalinnye ekigere wabweru n’ayambalagana n’embwa ne zimugajambula yakanze kulaajana nga tewali amudduukirira.

Embwa zaamulumye ne zimutuga olwafudde ne zitandika okumuluma ebifi era zaamulumye ennyama y’oku ntumbwe ne zigiggyako. Daudi Wakambi ng’ono mutabani wa Wakambi yategeezezza poliisi nti Mirembe bamuleeta ku Lwokutaano okutandika okukola.

Bwe baalidde ekyeggulo ku ssaawa nga 3:00 ne beggalira nga bamutegeezezza nti embwa tezimumanyi tafuluma. Kirabika obudde we bwakeeredde yabadde ayanguwa okukuma ssigiri atandike okufumba embwa we zaamugajambulidde.

Nnyinimu yabadde tasuzeewo bw’atyo Mirembe n’abulwa amutaasa mu bwangu era baagenze okumutuukako ng’embwa zimwambudde engoye zonna.

Sadick Kiggundu, muliraanwa wa Wakambi yategeezezza nti, abawulidde emiraga mu kikomera kya Wakambi ng’omukozi alaajana nti, “Munzise okudeeta mu maka agalimu embwa naye munnyambe embwa zimalawo,’’ kyokka nga tewali muntu yenna ataasa ate nga nabo batya okuyingira mu kikomera olw’embwa ezaabadde zitaamye okutuusa Mirembe bwe yaweddemu amaanyi nagwa wansi ng’ali bwereere.

Wakambi alina amaka amalala e Buikwe nga kigambibwa nti gye yabadde alaze ne mukyala we okulima ne balekawo abaana babiri awaka ab’emyaka 16, nga bano bagenze okufuluma okutaasa Mirembe ng’embwa zimulidde n’afa.

Oluvannyuma poliisi okuva e Katwe yaggyeewo omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago nga n’abaana abaabadde basigaddewo awaka baatwaliddwa ku poliisi okukola sitatimenti ng’omusango guli ku fayiro nnamba SD REF 07/07/09/2019.

Kyokka abatuuze baategeezezza nti, gye buvuddeko era embwa ya Wakambi yaluma omuvubuka engalo bwe yali alingiza mu kikomera kye ne bateegezza poliisi nti embwa kasita eruma omuntu eba yeetaaga kufa kuba ejja kuluma n’abasigaddewo ewaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.

Hat12 220x290

Bebe Cool atongozezza Kampeyini...

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri...

Freskid10 220x290

Fresh Kid akunze abato okweyiwa...

Fresh Kid akyaddeko ku kitebe kya Vision Group n'akunga abazadde okuleeta abaana baabwe mu kivvulu kya Toto Christmas...