TOP

Poliisi ekutte abadde alimira enjaga ku mabaati

By Moses Lemisa

Added 10th September 2019

MEDDIE Mugerwa ow’omu Kibe Zooni mu Muluka gwa Makerere III e Kawempe akwatiddwa poliiis y’oku Kaleerwe oluvannyuma lw’abatuuze okumulumiriza okulimira enjagala ku mabaati. Abaserikale nga bakulembeddwa omumyuka wa OC, Twahir Kasembeza baakutte Mugerwa n’enjaga ne bagiwanulayo ku mabaati waggulu.

Poliisi 703x422

MEDDIE Mugerwa ow’omu Kibe Zooni mu Muluka gwa Makerere III e Kawempe akwatiddwa poliiis y’oku Kaleerwe oluvannyuma lw’abatuuze  okumulumiriza okulimira enjagala ku mabaati. Abaserikale nga bakulembeddwa omumyuka wa OC,  Twahir Kasembeza baakutte Mugerwa n’enjaga ne bagiwanulayo ku mabaati waggulu.

Wadde abatuuze baamulumirizza nti enjaga yiye, Mugerwa yagambye nti ya mutabani wa nnannyini mayumba kyokka oluvannyuma n’akkiriza nti agikozesa nga ddagala lya nkoko. Musa Kakande omutuuze w’omu Ssebina Zooni yategeezezza nti waliwo n’ebifulukwa ebitaliiko mabaati waggulu  mu bitundu by’e Kawempe  ebyasimbwamu enjaga  abagivunaanyizibwako bwe bakwatibwa bagamba ddagala lya nkoko ekitali kituufu .

“Nsaba poliisi esitukireemu wadde waliwo enjaga eva mu byalo naye mu Kawempe mulimu erimu ng’ate  abakulembeze abamu bakimanyiiko …” Kakande bwe yategeezezza. Mugerwa baamugguiddeko omusango gw’okulima enjaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...