TOP
  • Home
  • Amawulire
  • AIGP Kasingye asabye abaserikale okweyisa obulungi

AIGP Kasingye asabye abaserikale okweyisa obulungi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2019

ABASERIKALE basabiddwa okweyisa obulungi nga bakola emirimu gyabwe kuba y’engeri yokka gye bayinza okutuuka ku buwanguzi.

Unity 703x422

AIGP Kasingye (ku kkono) ng’ayozaayoza Kalyegira.

Bino byabakubiriziddwa AIGP Asan Kasingye ku mukolo muserikale munne Steven Kalyegira kwe yajagulizza emyaka 40 mu buweereza mu poliisi ng’omukolo gwabadde ku Uganda Museum e Kamwokya.

Kasingye yagambye nti kizibu omuserikale okumala ebbanga mu buweereza n’atabaako nziro kyokka n’atendereza Kalyegira olw’enneeyisa ye ennungi.

Omukolo gwasoose na kusaba okwakulembeddwaamu Rev. Moses Nyombi okuva mu kkanisa ya St. Peters Wandegeya eyakubirizza abantu bulijjo okutambuliranga mu mazima.

Kalyegira ng’ono y’akulira poliisi ya Kira Road yeebazizza bamubeereddewo n’ategeeza nti poliisi ejjuddemu obulippo ne yeebaza Mukama olw’ekisa ky’amukoledde ekimutuusizza ku buwanguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

5216 220x290

Kkondomu ezisoba mu kakadde 1 ezirimu...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu