TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugingo agaanyi okusasula fiizi z’abaana Teddy n’akaaba: "Bwe baagenzeeyo okumusaba ffiizi yabasindikidde bakanyama ne babakuba'

Bugingo agaanyi okusasula fiizi z’abaana Teddy n’akaaba: "Bwe baagenzeeyo okumusaba ffiizi yabasindikidde bakanyama ne babakuba'

By Musasi wa Bukedde

Added 11th September 2019

MUKYALA Bugingo alaajanidde minista w’abaana n’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi akake bba, Aloysius Bugingo asasulire abaana fiizi.

Teeka 703x422

Teddy Bugingo ng’annyonnyola. Teddy Bugingo ng’asangula amaziga mu maka ge e Kitende. Bugingo ng’ayogera eri abagoberezi be.

Teddy Naluswa Bugingo oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne bba, yagambye nti embeera emuyitiriddeko olwa Bugingo okukuba abaana bwe baali bagenze okumusaba fiizi nga n’okutuusa kati tabawa wadde ekikumi batudde waka nga n’abalala amasomero gawandiise ebbaluwa ezibagoba.

Ng’omwezi gwa July guggwaako, Naluswa yagambye nti abaana baagenda ku mulimu kitaabwe gy’akolera era n’abaaniriza bulungi ne bamubuuzaako kyokka baali banaatera okusiibula ne basaba ssente za fiizi nga wano we yatabukira n’abavuma ebisongovu n’okubayisaamu empi.

Bugingo kigambibwa nti, yalagira abakuumi be ne bakasuka abaana bano ebweru wakati mu bukambwe bwe balojja n’okutuusa kati era baava ku ofiisi ye esangibwa ku kitebe kya Salt Media e Lungujja.

“Kino kimpitiriddeko, bwe tuba twakola nga tutegekera abaana mu kiseera kino ate n’agaana okubalabirira ky’alowooza mba sikitegeera,” Naluswa eyabadde mu kwewuunya bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti, abaana mu kiseera kino abasoma bali basatu nga beetaaga ssente za fiizi n’endala ezibayamba mu kusoma kyokka Bugingo yeeremye okuwa abaana ssente nga kwatadde n’okubagobaganya ng’alinga atali kitaabwe, kyokka nga Teddy talina mulimu ky’agamba nti osanga gwandimuyambye okusasula fiizi.

Teddy yali akola ne bba oluvannyuma lw’okuggulawo omukutu gw’amawulire kyokka kati yagobwa nga taweebwa musaala wadde ensako yonna ekyongedde okukalubya embeera.

Naluswa agamba nti, ekisinga okumuluma okutuuka okutwala omusango mu kkooti ye Bugingo okugaana okujja mu kkooti omulamuzi bwe yamuyita bateese ku ngeri gye bayinza okusasula fiizi z’abaana awatali kusika muguwa kyokka Bugingo yagaana.

Ayongerako nti, omulamuzi wa kkooti e Kajjansi yaakabayita emirundi ebiri bateese kyokka nga ye (Teddy ) ne looya we batuula ku kkooti ne balinda okutuusa lwe bakoowa ne badda eka nga Bugingo ne balooya be tebalabiseeko ate nga baggyeeko n’essimu zonna.

Ono eyasangiddwa mu maka gaabwe e Kitende yategeezezza nti, abaana be okuli asomera e Bungereza, ow’e Makerere n’omuto ali mu nassale bamuluma kubanga kati batudde waka ate ng’ekiseera kya kusoma kyokka bwe baagenda okusaba kitaabwe ssente yabasenza luti n’alagira bakanyama babakube.

“Ebikozesebwa awaka omuyambi we abadde byo abituwa, naye ssente za fiizi, Paasita yennyini y’alina okuzituwa kyokka agaanyi. Abaana bange bannuma nnyo.

Asomera e Bungereza ali mu mwaka gwe ogusembayo kyokka ssente aziremedde ng’ate azirina kubanga twategeka weeziri,” Naluswa wakati mu maziga bwe yategeezezza n’agamba nti okuggyako nga minisita ayingidde mu nsonga zino talina ssuubi lya baana be kusoma.

Yagambye nti, mu kkooti takyalinayo ssuubi kubanga abaana baddamu dda okusoma kyokka baali mu kkooti nga September 3, omusango ne gwongezebwayo okutuusa nga October 1, ky’agamba nti okusoma kw’abaana kubeera tekufiiriddwaako.

Era yawanjagidde sipiika, Rebecca Kadaga n’abantu abasobola okumuyamba bayingire mu nsonga zino kubanga bano baana ba ggwanga lyonna okutwalira awamu ng’okusoma kwabwe kuganyula eggwanga lyonna ate ng’olusoma lutambula kyokka kkooti tetuula.

EBY’OKWETONDA NABIRABA MU MAWULIRE

Muka Bugingo yagambye nti ensonga za Bugingo okumwetondera ku nsonga y’okumwogerako nga bwe yalina ekikulukuto yaziwulira mu mikutu gy’amawulire nga tamwetonderanga mu buntu wadde okumukubira essimu.

Naluswa yagambye nti, ebiseera ebisinga Bugingo by’ayogera ate si by’akola n’agamba nti ebigambo byangu okwogera kyokka okubikola ne kifuuka ekizibu.

Era yagambye nti mu kiseera kino abaana be nabo bayita mu kaseera akazibu nga n’emmere ebalema okulya olw’embeera kitaabwe gye yabayisaamu lwe baagenda okusaba fiizi.

Naluswa era agamba nti, byonna Bugingo yandibikoze wabula n’asigala ng’alabirira abaana be kubanga ye kitaabwe tewali mulala ate abaana bazaalibwa maama ne taata nga balina okuyambibwa.

“Mu kitabo ekitukuvu tewali ssuula yonna egaana muzadde kulabirra baana be, wabula kino ekigenda mu maaso kikontanira ddala ne Bayibuli ssaako musumba by’abuulira,” Naluswa bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...