TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okutta Nagirinya: Bambega Project Officer ate bwe waayitawo

Okutta Nagirinya: Bambega Project Officer ate bwe waayitawo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th September 2019

OMUYIGGO gw’eyapangisa abaatemudde Maria Nagirinya, bambega bagutunuulizza abamu ku bakozi b’ekitongole omugenzi gy’abadde akolera.

Pala 703x422

Omugenzi Nagirinnya

Nagirinya yawambiddwa ne ddereeva we Ssaalongo Ronald Kitayimbwa nga August 28, oluvannyuma emirambo gyabwe ne gisangibwa e Nama - Mukono.

Nagirinya abadde n’ekifo eky’amaanyi ekya Project Manager mu kitongole kya Community Integrated Development Initiative (CIDI) e Muyenga.

Ku Ssande, abeebyokwerinda abaakulemebddwa abamagye ba CMI baakutte abagambibwa okutemula Nagirinya be baazinduukirizza e Nateete mu kifo kya Mabiito.

Abaakwatiddwa kuliko; Hussain Kasolo eyakazibwako erya Arsenal.

Ono yalabikira ku katambi ng’avuga emmotoka ya Nagirinya oluvannyuma lw’okumutta.

Abalala ye Johnson Lubega ne Hussein Kisekka. Abatemu balumiriza nti okutemula Nagirinya baabadde ku mulimu.

Waliwo eyabapangisa n’abasasula ssente okumukolera omulimu. Bo ku lwabwe tebalina nsonga yandibasizza Nagirinya.

Bambega baategeezezza nti bagaziyizza okubuuliriza ne bakutunuza mu kitongole Nagirinya gy’abadde akolera.

Rose Mwambazi, Senior Programs Manager Water & Sanitation mu kitongole Nagirinya gy’abadde akolera (CIDI) yategeezezza Bukedde nti Nagirinya yagendayo nga muyizi eyali asindikiddwa okubangulwa mu nkola y’emirimu (intern) emyaka munaana egiyise.

Oluvannyuma yafuuka Assistant Project Officer ate bwe waayitawo ebbanga n’afuuka Project Officer.

Bwe yava awo n’alinnyisibwa n’afuuka Assistant Project Manager ate mu February 2019 n’alya ekya Project Manager avunaanyizibwa avunaanyizibwa ku mazzi n’obyonjo mu Munisipaali y’e Nakawa.

Abanoonyereza baakizudde nti, okuva ku kifo kya Assistant Project Manager okutuuka ku Project Manager, waliwo abantu abazze bagobwa ku mirimu gyabwe oluvannyuma lw’okubazuulamu ebituli.

Ate Jane Ndibazza, maama wa Nagirinya omuto ku Mmande nga September 2, 2019 yategeezezza Bukedde nti muwala we yamubuulirako nti ku mulimu eriyo embeera eteri nnungi era yali asaba Katonda amuwe omulimu omulala kubanga yali atuuse ku ssa “ly’obutamalaako”.

Okunoonyereza ku bakozi ba CIDI, bambega baagambye nti si kwa kwenkomeredde ne bategeeza nti, balina ebintu bingi bye banoonyerezaako okuzuula eyagula omutemu omutuufu.

ENGERI ABATEMU GYE BAALUKA OLUKWE;

Kasolo eyakwatiddwa yagambye nti ye ne banne bwe baakoze misoni y’okutta Nagirinya, baafuuka baamukwano bwe baasisinkana mu kkomera e Luzira.

Kasolo ne banne abalala, baabasiba mu 2013 ku musango gw’okutta omukazi wa Mobile Money e Nateete ne bamunyagako ssente.

Yagambye Abeebyokwerinda nti, mu kkomera gye baakwataganira ne munnaabwe omulala amanyiddwa nga Baros gwe baabadde naye mu kutta Nagirinya (tannakwatibwa). Baros naye yali yasibwa ku misango gy’obubbi.

Bonna baayimbuddwa lumu mu July omwaka guno ne baddayo e Nateete gye baasanze bannaabwe ne batandikira we baakoma.

Okutemula Nagirinya ne Kitayimbwa, gwe gumu ku mirimu gya baasookeddeko nga bavudde e Luzira.

Kasolo yannyonnyodde abaserikale nti Baros ye yaleeta omulimu gw’okuwamba n’okutta Nagirinya n’agamba nti Kitayimbwa baali tebalina kye bamwagalako kyokka engeri gye yali ne Nagirinya mu mmotoka, beesanga nga tebalina kya kumukolera okuggyako okumutta.

BEEYAMBISA EKIBUNDU EKIKOLERERE

Baros bwe yabasomera ddiiru, abatemu baatuuza olukiiko ne bateesa ku ngeri y’okutemula Nagirinya.

Bakkaanya nga bwe baalina okumutta ekiro, kyokka ne bakizuula nga mu mmotoka abeeramu n’omusajja omulala (Kitayimbwa) ate nga bagivuga beesibiddemu.

Munnaabwe yaleeta amagezi, emmotoka bagikube ekiyinja ku ndabirwamu eyiikemu babasikeyo ku mpaka wabula ne bakitya nti bwe bakozesa ekiyinja, ddereeva yali ajja kusimbula abaddukeko.

Baayiiya emmotoka okugitega emisumaali ne bakizuula nti waali wajja kubawo ensasagge ya maanyi kwe kukomekkereza nga basazeewo okweyambisa emmundu.

Bakkaanya banoonye omuserikale w’emmundu gwe banaakozesa. Kyokka oluvannyuma ne bakivaako kubanga Baros yali abagambye nti omugagga abawadde 1,500,000/- zokka.

Kwe kusalawo okugula emmundu y’okuzannyisa “toy gun”(eringa mmundu kyokka nga tevaamu masasi).

Baasalawo okuzingiza emmotoka ya Nagirinya ku geeti eyingira ewuwe nga talina waddukira. Era misoni baalina okugikola mu bwangu okwewala okubasanga kubanga tebalina ntambula yaabwe.

Baalina kukozesa mmotoka ya Nagirinya. Mu kuwamba Nagirinya ne Kitayimbwa, omutemu yakozesa emmundu enkolerere n’ayitira ku luggi lwa ddereeva n’amusongamu “emmundu” n’amulagira aggulewo mangu.

Kitayimbwa yafuluma awanise emikono ne bamukubirawo jjeeke y’emmotoka ku mutwe n’afiirawo.

Tekyategeerekese oba jjeeke abatemu bajja nayo, oba baakozesa obwangu ne bagiggya mu mmotoka ya Nagirinya.

Omutemu omulala yaboggolera Nagirinya obutalekaana oba si ekyo bamukube essasi. Nagirinya yagondera ebiragiro ne bamuzza mu mutto emabega.

Baasitula omulambo gwa Kitayimbwa ne bagussa mu bbuutu ne bavuga. Kasolo ye yavuga emmotoka ate Johnson Lubega ne Baros ne batuula emabega nga bakutte Nagirinya. Nagirinya yagenda alwana ng’alaajana baleme kumutta.

Emmotoka baagivuga badda Nateete, gye baasanga emmotoka endala Prado egambibwa okubaweebwa omugagga eyabapangisa.

Nagirinya baamussa mu mmotoka eno n’omulambo gwa Kitayimbwa.

Kasolo yavuga emmotoka ya Nagirinya n’agenda e Kireka okusisinkana omu ku baakulira ddiiru. Eno gye yava okudda e Nateeete mu Kitooro we yasuula emmotoka ya Nagirinya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...