TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssenga wa Rema ayogedde ku biriwo ne kabiite we omupya

Ssenga wa Rema ayogedde ku biriwo ne kabiite we omupya

By Musasi wa Bukedde

Added 11th September 2019

SSENGA wa Rema Namakula agambye nti nga famire bakkirizza muwala waabwe okufumbirwa Hamzah Ssebunya kubanga ewa Kenzo babadde mu bufumbo bwa kito.

Rema 703x422

Rema ne Hamzah. Ku ddyo, Rema ng'amema

Bya MARTIN NDIJJO NE HAFSWA NANKANJA

Sarah Nabatanzi eyasangiddwa mu maka ge e Kyengera - Nkokonjeru Zooni yagambye nti kyewuunyisa okulaba ng’ebbanga ery’emyaka ettano Kenzo gy’amaze ne Rema ne bazaala n’omwana tabakyalirangako kyokka Hamzah mu kabanga akatono asobodde okugenda n’abalabako.

“Okuggyako okuwulira nti Rema abeera ne Eddy Kenzo nze Kenzo simulabangako era ndowooza Rema abadde abeera na mukwano gwe so ssi bba, kubanga tamutwanjulirangako.”

Nabatanzi eyabadde ayogeza essanyu yagasseeko nti, “Wadde Rema tumutwala ng’omwana, muntu mukulu eyeesalirawo kale bw’aba ng’aleesewo Kenzo agende ne Hamzah tewali buzibu era tetusobola kumugaana kubanga ye mwami gw’asimye mu bangi.

Rema tumwagaliza bufumbo obuli siriyaasi era tumusabira mirembe n’obufumbo obulungi ne Hamzah era lino ly’essanyu ly’omuzadde yenna,” Nabatanzi eyabadde ayogeza essanyu bwe yagambye.

Mu nteekateeka ezigenda mu maaso ng’abooludda lwa Rema beetegeekera muwala waabwe okubanjulira omulenzi we omupya mu butongole, batandise okutuuza enkiiko mu mbeera ey’okusisinkana n’okubaako bye basalawo era Rema yakozesezza omukisa gw’olukiiko olwatudde e Kyengera ku Lwokutano okutwala Hamzah ayongere okusisinkana abooluganda lwe n’okubamanya.

Abantu abalabye Hamzah ng’agenze e Kyengera abasinga baalowoozezza nti agenze kukyala wa ssenga olw’ebintu bye yagenze nabyo.

Kyokka Issa Musoke, ssentebe w’olukiiko oluteekateeka okwanjula kwa Rema yategezezza nti Hamzah yabadde awerekeddeko Rema, omukolo gw’okukyala mu butongole ewa Ssenga gugenda kubeerawo mu maaso awo.

Nabatanzi era yalaze okutya n’okusoomoozebwa muwala we (Rema) kw’ayitamu olw’ebigambo ebiyitiηηaana naddala ku mikutu gya ‘social media’ omuli n’abantu abamu okwogerera bba (Hamzah) ebisongovu n’abo abagamba nti obufumbo bwabwe tebugenda kuwangaala.

Yagambye nti agoberera ebigenda mu maaso era yeewuunya abantu abakuma omuliro mu bantu n’okutandikawo entalo nga bateekawo ebibinja omuli ttiimu Eddy Kenzo ne ttiimu Rema.

“Nsaba abantu bonna baagalize Rema obufumbo obulungi kubanga ayise mu bingi lwakuba tebabimanyi kuba abadde tabyogera. Bwe kiba nga kye kiseera kye okufuna essanyu tewali nsonga ate abalala bamwogerera amafuukuule.” Bwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...