TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukuleetedde sabbuuni w’ebikoola by’amapaapaali awonya olususu olusiiwa n’agoba akasu

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukuleetedde sabbuuni w’ebikoola by’amapaapaali awonya olususu olusiiwa n’agoba akasu

By Musasi wa Bukedde

Added 11th September 2019

BAJJAJJAFFE obugunjufu bwabwe baabulagiranga mu bikoola by’amapaapaali. Abangereza we baaberera mu butiti nga tebanaaba ne bafuna obulwadde bwa kawumpuli ne bubatta okubamalawo mu kyasa kya 15, ate bajjajjaffe bo baali bategedde ku bikoola by’amapaapaali.

Kule 703x422

Sabbuuni akolebwa mu mapaapaali ku Prof Bioresearch

Baabyozesanga engoye okugoba obucaafu, okunaaba ne basobola okweyonja ate nga tabakoseddwa.

Wano ndowooza olaba nti, baakira ku Bangereza obuyiiya. Naye abange byo byadda wa? Kino ky’ekiseera ekituufu okubikomyawo era bikomyewo mu kyasa kino era tusobola okubikolamu sabbuuni.

Ate olw’embeera ya ssente obutaba nnyangu, osanga abantu oba amaka nga sabbuuni gwe bakozesa okwoza n’okukuuta ate gwe banaaba ekintu ekikyamu, alimu ekirungo kya ‘Caustic soda’ ekyokya olususu ne kirukaddiya. Kati naaba ono akoleddwa mu bikoola by’amapaapaali.

Ky’ova olaba osanga omukyala ava okwoza engoye naye ng’engalo zonna zisiridde n’okukakanyala.

Tulina okukkiriza mu ssaayansi nti, ekintu kyonna ky’oteeka ku lususu lwo oteekeddwa okuba ng’osobola n’okukirya, ky’otolya tokissanga ku lususu lwo kuba gwe mumwa ogusingayo obunene, ky’ova olaba ng’obutwa bukuyingira mangu ekiraga nti, olususu lulimu obutuli obuyitamu entuuyo okufulumya obucaafu obuva mu musaayi ggwaffe. Mu mbeera eyo tulina okukozesa ebintu by’obutonde.

Alina amapaapaali, ofunye omukisa okukolamu sabbuuni ow’obutonde agenda okuyamba abantu abalina ebizibu by’ensusu nga embalabe, kuba ze zisinga okutawaanya abantu naddala abavubuka.

Sabbuuni ono alimu ekirungo kya ‘Saponin’ ekiyamba okutta obuwuka bwonna obuleeta embalabe, ate nga takakanyaza lususu kuba talina bbugumu lisobola kwokya lususu.

Sabbuuni ono osobola n’okumusenyesa kubanga wa ‘alkaline’. Tulina obuzibu nti, ‘fluoride’ ekirungo ekissibwa mu ddagala ly’amannyo kiwomoggodde ebituli mu mannyo g’abantu ne bafuna obuzibu mu kulya ebinnyogoga oba ebyokya, kuba buli kiseera amannyo gaba gabaluma nga n’oluusi bagaayamu katono nga bamira okukkakkana ng’embuto zeesibye.

Osobola okukozesa sabbuuni ono n’oyambibwa okuggyamu asidi yenna ayokya amannyo, ‘fluoride’ yenna n’omwozaamu n’amannyo ne gasigala nga malamu.

Ensi nga Nigeria bafunye mu sabbuuni ono era bo bamuyita ‘Dudu soap’ nga waliwo ne kkampuni ezaagezaako okukozesa erinnya lya ‘Dudu’ nga bakiggya mu bikoola by’amapaapaali.

Mu Amerika mu katale ka AGOA aba Nigeria bafuna ssente mpitirivu kuba kye kimu ku bintu bye bakyasinze okutunda ebweru w’eggwanga lyabwe. Ku baana abawere, abayamba ku lususu. Bw’omuggya ku kyogero musse ku sabbuuni avudde mu mapaapaali.

Ayamba okuweweeza olususu n’atayokebwa ppampa, aziyiza okubutuka, agonza olususu.

Eri omusajja amwedde ebirevu, siigako ebyovu okuva mu bikoola by’amapaapaali obutafuna butulututtu n’obuzimba. Ne bw’oba ogenda kusala ekirevu osobola okumusoosaako.

Ku bakyala, abayamba okulwanyisa kandida n’okuleka obuwuka obwetaagibwa nga bulamu mu bitundu byekyama.

Ku kaabuvubuka, mukube mu nkwawa ogobe olusu ate akola ng’akawoowo.

Aziyiza olususu okukaddiwa n’olabika bulungi ate n’okubeera nga terukusiiwa. Abalina binnamakula, sabbuuni ono abayamba.

Abafuna ebiba ng’awamu beeru ate awalala baddugavu abayamba okutereera.

Akola ng’ebizigo naddala ku balina ensusu ezikala n’azirekamu ka butto kuba tayokya lususu.

Abakooye ennyo, akkakkanya ebirowoozo kuba akuweweeza. Asobola okukola nga sabbuuni anaaza mu nviiri, ekitegeeza nti aba saluuni abakolera.

Ayamba ne ku mubiri ogusiiwa. Omukenkufu Nyanzi asangibwa ku Equatorial Mall, edduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...