TOP

Bugingo alaze ssente zaasaasaanya ku Teddy

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2019

PAASITA Aloysius Bugingo awakanyizza ebyayogeddwa mukyala we, Teddy Naluswa nti taweerera baana be n’agamba nti bya bulimba.

Bya PETER SSAAVA
 
PAASITA Aloysius Bugingo awakanyizza ebyayogeddwa mukyala we, Teddy Naluswa nti taweerera baana be n’agamba nti bya bulimba.
 
Bino biddiridde Teddy okuvaayo n’ategeeza nga bba bwatakyaweerayo baana fiizi era ensonga n’azitwala ewa minisita avunaanyizibwa ku by’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi akake bba atuukirize obuvunaanyizibwa bwe ng’omusajja.
 
Ng’asinziira mu lukuhhaana lwa bannamawulire eggulo ku ofiisi ze e Lungujja, Bugingo yategeezezza nti Teddy by’ayogera alina ebigendererwa bye birala era eby’okugamba nti taweerera baana yalimbye ggwanga.
 
Yagambye nti omwana we, Doreen Bugingo yamuweerera okutuusa lwe yamaliriza emisomo gye e Makerere n’akuguka mu by’amasimu nga zaali ssente ze n’amaanyi ge okulaba nga muwala we amaliriza.
 
Yagambye nti abaana be abalala bonna abasoma abaweerayo ssente ku masomero nga tewali n’omu gwe babanja nga kuno ateekako n’abantu abalala baayamba mu kubasasulira ebisale by’amasomero.
 
“Sirina ssomero mwana wange gyasomera nga babanja era Teddy by’agamba nti siwerera baana alimba era nnina obukakafu obulaga nti nzize nsasula ssente okuva abaana bange bwe baayingira mu ssomero.” Bugingo bwe yagambye.
 
Yakyukidde mukyala we Teddy Bugingo olw’okugamba nti tamulabirira n’ategeeza nti buli mwezi asaasaanya 3,200,000/- ku bintu byonna ebikozesebwa awaka.
Ku zino emitwalo 20 zigula amafuta g’emmotoka buli wiiki etambuza omwana omuto okugenda ku ssomero e Lubowa ate emitwalo 20 amalala buli wiiki ne gagula amafuta g’emmotoka etambuza muwala we okumutwala ku Yunivasite e Makerere.
 
Emitwalo 40 Bugingo agamba nti aziwaayo kugula bikozesebwa awaka omuli eby’okulya n’okusasula abakuumi abakuuma awaka nga zino zonna aziwaayo buli wiiki.
 
Yagambye nti buli wiiki afuba okulaba ng’emitwalo 80 gituuka ewa Teddy era alina obukakafu bwa lisiiti eziweebwa eyaweebwa omulimu gw’okuweereza Teddy ssente.
 
“Ebyo byonna ne mbikola omukazi n’asigala ng’agamba nti sirina buyambi bwe mbawa ndaba ng’aba alimba kuba nnina obukakafu obulaga nti nteekayo ssente. Teddy aleke kuwuddiisa bantu nti sirina kye mmuwa kuba kimpisa bubi ng’omuzadde ssaako n’abaana bange bwe bawulira bino,” Bugingo bwe yayongeddeko.
 
Yagambye nti alindirira bupapula bwa bbanka okusasulirwa fiizi okuva ewa Teddy n’eza ttaamu eno azisasule n’agattako nti by’ayogera nti muwala we ali ku Yunivasite bamubanja bya bulimba kubanga talabangayo Yunivasite ekuba ssimu ng’ebanja ssente nga ssomero lya pulayimale nga Teddy bw’ayagala okukiraga.
 
Bugingo yagambye nti bwe kinaaba kyetaagisa ajjanga kukwata ssente za fiizi aziwe minisita Nakiwala Kiyingi eyo Teddy gy’anaaziggyanga n’olwo luggwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...