TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala awakanyizza abaakwatiddwa ku by’okutemula Nagirinya

Omuwala awakanyizza abaakwatiddwa ku by’okutemula Nagirinya

By Cathy Lutwama

Added 13th September 2019

OMUWALA eyaliwo ng’abatemu bawamba Nagirinya, yasoose kwetegereza bifaananyi byonna eby’abasajja poliisi be yakutte, oluvannyuma n’awunzika ng’abigaanyi.

Maria1 703x422

Omugenzi Nagirinya

Bya MUSASI WAFFE
 
OMUWALA eyaliwo ng’abatemu bawamba Nagirinya, yasoose kwetegereza bifaananyi byonna eby’abasajja poliisi be yakutte, oluvannyuma n’awunzika ng’abigaanyi.
 
Brenda Nakyejwe (ssi ge mannya ge amatuufu) yasoose kwetegereza bifaananyi
bya ttivvi oluvannyuma ne yeekaliriza ebyafulumidde mu mpapula z’amawulire.
 
Yagambye nti kyamutwalidde ekiseera nga yeekaliriza ebifaananyi bino nga bw’abigeraageranya n’abasajja be yalaba abaawamba Maria Nagirinya Gateni 28, kyokka n’atamatira.
 
Nagirinya eyali akola mu kibiina ky’obwannakyewa ekiyitibwa CIDI e Muyenga, yawambibwa abatemu nga August 28, 2019 ne ddereeva we Ssaalongo Ronald Kitayimbwa ne babatta emirambo ne bagisuula e Nakitutuli – Nama mu disitulikiti
y’e Mukono gye gyasangibwa oluvannyuma lw’ennaku bbiri.
 
Nakyejwe okubuusabuusa akwesigamya ku bye yeetegereza ku batemu naddala omusajja eyali avuga era ng’ono ye yalabikira ne mu katambi poliisi ke yasooka
okufulumya.
 asolo eyakwatiddwa Kasolo eyakwatiddwa.

 

Nakyejwe yagambye nti akatambi ka poliisi bwe kaafuluma yakkiririzaawo nti omusajja yooyo kubanga kaali kakwatagana bulungi n’ebyo bye yeetegereza ku mutemu oyo.
 
Yeetegereza amaaso amanene, obuwanvu, essaati enjeru n’ekijaketi ekimyufu bye yali
ayambadde, nga byonna bikwatagana bulungi.
 
Wabula ku luno, Nakyejwe yategeezezza nti omusajja gwe bagamba nti ye yalabikira mu katambi ka poliisi era nga yooyo gwe yalaba, takwatagana bulungi n’oyo eyakwatiddwa.
 
Yagambye nti wadde eyakwatiddwa alina ekiwago ekifaanana n’oyo eyawamba Nagirinya, wabula amatama g’omutemu Nakyejwe gwe yeetegereza nti tegaali manene kwenkana ag’onoeyakwatiddwa. 
 
Yagasseeko nti n’ekijaketi kye yabaddemu era poliisi ky’egamba nti mwe yamukwatidde kya kikuusikuusi ate ng’ekijaketi ky’omusajja Nakyejwe gwe yeetegereza kyali kimyufu.
 
Ekyandimazeemu Nakyejwe akakunkuna, y’enkola etera okukolebwa bambega ba poliisi ey’okutwala omuntu eyalaba abatemu mu kifo we baba basibiddwa okukakasa nti beebo; wabula omwogezi wa poliisi yategeezezza Bukedde ku Lwokuna nti mu musango guno enkola eno tebagenda kugikozesa kubanga obujulizi bwe bategese bwonna bwesigamiziddwa ku saayansi ne siteetimenti z’abasibe nga battottola bwe
baawamba n’okutta Nagirinya ne Kitayimbwa.
 
Nakyejwe yagambye nti kisoboka okuba ng’abasajja abaakwatiddwa beebamu ku baali mu lukwe, wabula abasajja bennyini abatuufu ye be yalaba bwe yaggula ggeeti e Lungujja okutaasa mukulu we ng’abasajja bamuwamba, baali balala era beetaaga
kuyiggibwa bakwatibwe.
 
Ebigambo bya Nakyejwe bikwataganye n’ebya Francis Lubowa kitaawe wa Nagirinya eyategeezezza nti mu kulaba kwe, abatemu abatta Nagirinya bakyalya butaala era ng’ayagala bakwatibwe.
 
Lubowa yagambye nti, abantu poliisi be yakutte, bayaga b’e Nateete abalabika okubeera abamenyi b’amateeka aba bulijjo era abuusabuusa nti be baakozesebwa
mu kutta Nagirinya.
 
Lubowa yagasseeko nti, abatemu abatta muwala we abuusabuusa nnyo nti bayinza okumala gabakwatira mu bikwekweto ebya bulijjo nga bali mu bbaala ya Bristol
ne ku Mabiito e Nateete nga bwe kyabadde ku bano.
 
Lubowa yalambuludde nti bwe yeetegereza ekifaananyi ky’omusajja ali mu mmotoka ya muwala we kkamera za poliisi ze kyakuba, alaba omusajja attuludde ali mu myaka 40 ku 45 ate ng’alabika wa kiwago alinamu ne ku ssente, kyokka poliisi be ya-
kutte bavubuka abayaga abasula mu bifulukwa.
 
POLIISI ERAZE OBUJULIZI KWE YEESIGAMYE
Poliisi egamba nti mu ssaayansi gwe baakozesezza okukakasa nti abaakwatiddwa be batemu mulimu okutwala engoye zaabwe ze baazuula mu kifo we basuula emirambo kw’ossa omusaayi ogwasangibwa mu mmotoka okukakasa nti bikwatagana. Bino
byatwaliddwa ew’omukugu wa Gavumenti e Wandegeya (Government Analytical Laboratories – GAL) okuzuula oba endagabutonde ezibiriko ze z’abagambibwa
okubeera abatemu.
 
Abakugu ba poliisi era, bali mu kwekenneenya ebinkumu ebyazuuliddwa mu mmotoka ya Nagirinya Toyota Spacio nnamba UBA 570V, bye baggye ku mirambo ne bye baggye ku bagambibwa okubeera abatemu okulaba oba bikwatagana. Enanga yagambye nti, baakozesezza obujulizi bw’abagambibwa okubeera abatemu bwe beewaddeko
okukakasa nti be battaNagirinya. 
 
Yagambye nti, baayogedde engeri gye baafunamu “ddiiru” y’okutta Nagirinya n’engeri gye baagituukirizaamu ne bagoberera buli ekyabagambiddwa ne bazuula nga byonna bye baabagambye bituufu okusinziira ku kunoonyereza kwe baliko.
 
Omu ku bagambibwa okubeera abatemu, Hussain Kasolo amanyiddwa ennyo nga Arsenal yabuulidde poliisi engeri ‘misoni’ gye yabaweebwamu n’agamba nti, munnaabwe Baros ye yagibasomeramu wabula tebamanyi ani mugagga yabawa mulimu n’ekigendererwa kye tebakimanyi.
 
“Ffe tetubuuza bigendererwa kasita ‘amaja’ (ssente) gaffe tukakasa nti weegali gwe batutumye okunyiga nga tumunyiga nga kiggwa” Arsenal bwe yategeezezza aba poliisi.
 
Enanga yagambye nti, essaawa eno, babuzaayo omuntu omu yekka ku bagambibwa okubeera abatemu abatta Nagirinya n’ategeeza nti, abalala bonna babalina era bali mu nteekateeka za kubatwala mu kkooti nga bwe banoonya munnaabwe abulayo.
 
Yagasseeko nti, waliwo abantu be baasooka okukwata okwali n’owa bodaboda eyalabikira mu kkamera ezaakwatibwa ku Supermarket ya Green Apple Fast
Foods e Lungujja ng’agoberera mmotoka be bagenda okuyimbula kubanga baakizudde nti, tebalina kakwate konna ku ttemu lino.
 
Abasibe baayawuddwamu emirundi ebiri, abasooka okukwatibwa abaazuuliddwa nti
tebalina kakwate ku ttemu lya Nagirinya wadde baalabikira mu kunoonyereza kwa poliisi, baatwaliddwa ku poliisi y’e Katwe ate abagambibwa okubeera abatemu
n’abalina kye baamanya ku ttemu lino, baggaliddwa mu kaduukulu ka CMI.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano