TOP

Kenzo aloopye Dokita okumubbako Rema

By Benjamin Ssebaggala

Added 13th September 2019

KENZO alinnye eggere mu mukolo gwa Rema ne Dr. Ssebunnya bw’addukidde mu lukiiko olufuga abasawo n’alusaba lunoonyereze ku Dokita eyamusigulidde mukyala we bwe yagendayo okumujjanjaba.

Rema11 703x422

Rema

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA
 
KENZO alinnye eggere mu mukolo gwa Rema ne Dr. Ssebunnya bw’addukidde mu lukiiko olufuga abasawo n’alusaba lunoonyereze ku Dokita eyamusigulidde mukyala we bwe yagendayo okumujjanjaba.
 
Sharif Ssentongo Nambale ku lwa Kenzo ye yagenze mu kakiiko akafuga abasawo aka Allied Health Professionals ng’ayita mu bannamateeka aba Ms Nalukoola, Kateeko Advocates and Solicitors n'aloopa Ssebunnya okusattulula obufumbo bwa Kenzo ne Rema.
 
Engeri gye busattuluddwaamu ye Dr. Hamza Ssebunya, Rema gye yagenda okumujjanjaba ate n’amukyukira n'amuganza. Nambaale yeemulugunya nti, ekintu Dr. Ssebunya kye yakola kikontana n’amateeka agafuga abasawo.
 
 enzo Kenzo

 

Ayongerako nti akakasa bulungi nti, etteeka eritondawo olukiiko luno liruwa obuyinza n’amaanyi okunoonyereza n’okukangavvula abasawo abasiiwuuka empisa ne baganza abalwadde abagenzeeyo okujjanjabibwa.
 
Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola yategeezezza Bukedde nti, omuntu waabwe yawulidde ng’akwatiddwaako olw’ekikolwa kya Dokita kwe kusalwo yeekubire enduulu era ye ky’asaba kiri kimu akakiiko kabuulirize ku nsonga eno kaveeyo n’okusalwo ng’amateeka bwe gabalagira.
 
Nalukoola annyonnyola nti omuntu waabwe yeekubidde enduulu ng’ayagala olukiiko lunoonyereze ku mpisa za Dokita Ssebunnya oba ddala kye yakola tekikontana na mateeka agafuga omulimu gwe yasomerera.
 
“Okwemulugunya kwe tulina okuva ew’omuntu waffe ayagala kumanya oba Dr. Ssebunnya kye yakoze tekikontana na mateeka ga kisawo wabula ssi bufumbo bwa Kenzo kubanga ye obufumbo bwa bano ababiri talina w'abuyingiriramu", Nalukoola bwe yannyonnyodde.
 
Newankubadde aba Kenzo bawaabidde Dr. Ssebunnya nti, yaganza Rema ng'agenzeeyo okumujjanjaba ekituufu kiri nti, Dr. Ssebunnya abadde muyizi asomerera obusawo era yaakabumaliriza noolwekyo teyali mukugu mu ndwadde z'abakyala okujjanjaba Rema okutuuka okumuganza.
 
Dr. Sabrina Kitaka omu ku basomesa ababadde basomesa Dr. Ssebunnya yagambye nti, Ssebunnya abadde muyizi we era yamalirizza okusoma era ekiddako agenda kugezesebwa (internship) n'oluvannyuma akakasibwe ng'omusawo.
 

 

Kenzo w'atuukidde okugenda mu mbuga z’amateeka nga Rema n’abooluganda lwe bali mu kwetegekera mukolo era mu lukiiko lwe baatuuzizza e Kyengera okuteesa ku mukolo Rema gwe mukisa gwe yakozesezza okubalaga olulebzi lwe olupya.
 
Ssenga wa Rema, Sarah Nabatanzi eyasangiddwa mu makaage e Kyengera – Nkokonjeru zooni yategeezezza Bukedde nti yeewuunya okulaba nti emyaka etaano Rema gy’amaze ne Kenzo tabakyalirangako era tebamumanyi.
Yagambye nti Rema bamwagaliza bufumbo obuli ‘siriyaasi’ era bamusabira mirembe ne Hamuza.
 
Kenzo ng'asinziira mu Amerika yategeezezza Bukedde nti abadde akyayagala Rema era kyamulumye okulaba nti yamutegeereza ku ssimu nti amukyaye era agenda.
 
Ekirala nti omwana we akumutwala akulire mu kasolyo k’enju y’omusajja omulala akyo kimuluma.
 
Wadde Ssentongo agamba nti, Ssebunnya yali musawo wa Rema, naye wiiki ewedde Bukedde yakitegedde nti, Ssebunnya okusooka okulaba Rema yali agenze kuyimba ku mukolo ku UMA e Lugogo eyo gye yamusabira beekubye ebifaananyi ng’omuwagizi we n’oluvannyuma n’afuna ennamba y’essimu ye n’amusindikira ebifaananyi bye beekubya.
 
Olwamaliriza okuweereza ebifaananyi n’atandika okuweerezaako mesegi nga Rema tayanukula kyokka ng’ali mu bizibu ne Kenzo bwe yeebuuza ku mikwano gye ne gimuwabula anyweze Ssebunnya kubanga ye musajja ow’ekirooto kye gw'abadde anoonya era asobola okumumalako ennyonta ya laavu gy'alimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...