TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya n’engeri gye yatandika Rema

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya n’engeri gye yatandika Rema

By Benjamin Ssebaggala

Added 15th September 2019

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November wa 2012 oluvannyuma nga wayiseewo akaseera yeegatta ku Yunivasite e Makerere okusoma obusawo nga kati amazeeko omwaka ogwokutaano yeetegekera kutandika kugezesebwa e Mulago afuuke Dokita omujjuvu.

Img20190831wa0235209984377320145757 703x422

Okusinziira ku biwandiiko ebiri mu kakiiko akafuga abakola emirimu egyekuusa ku by’obulamu aka Allied Health Professionals Council, (AHPC) Sebunya mmemba omujjuvu era nnamba ye eri 19178.

Dipulooma yagisomera mu Jinja Mediacal Labaratory School n’afuuka Medical Labaratory Laboratory Technician.

Kino kitegeeza nti ekifo aba Kenzo gye beekubidde enduulu bayinza okufunayo ekiramu.

Akulira okuwandiisa bammemba mu AHPC, Patrick Mpiima Kibirango bwe twamukubidde essimu okunnyonnyola ku nsonga eno yategeezezza Bukedde nti ekiseera kino taliiyo mu ofi isi waakuddayo omwezi ogujja kyokka nti ebiwandiiko byonna ebikwata ku bammemba baabwe biri ku mukutu gwabwe ogwa Yintaneti.

Bukedde okukola okunoonyereza kuno kyaddiridde Munnayuganda Sharif Ssentongo Nambaale ng’ayita mu Bannamateeka ba MS Nalukoola, Kateeko Advocates & Solicitors okutwala okwemulugunya kwe mu kakiiko ka AHPC nga bagamba nti ayagala banoonyerereze ku Hamza Sebunya gw’alumiriza nti yamenya amateeka agafuga omulimu gwe okuganza Rema.

Munnamateeka Erias Luyimbaazi Nalukoola eyatadde omukono ku kiwandiiko nga Ssentongo asaba akakiiko kabuulirize yategeezezza Bukedde nti omuntu waabwe tannaba kuwaaba musango wabula yawandiikidde akakiiko ng’ayagala kanoonyereze oba ebyogerwa bituufu.

Ebbaluwa egamba nti Ssentongo azze akiraba mu mawulire ne ku mikutu gya yintanenti nti Sebunnya ategeka kuwasa Rema ate ng’akimanyi Rema Namakula abadde muka Edrisa Musuuza ng’era kigambibwa nti Rema yali agenze wa Ssebunnya okumujjanjaba n’amwefuulira n’amuganza.

Olukalala oluliko amannya g’abantu abeewandiisa mu kibiina kino, kuliko ebikwata ku bantu nga bakozi mu by’obulamu kyokka nga ssi basawo abajjanjabi.

BYE TUZUDDE KU BUYIGIRIZE BWA SEBUNYA

Olukalala oluli ku mukutu gwa Allied Health Professionals council oluliko ebikwata ku bammemba mu bujjuvu, lulaga bweruti ebikwata ku Ssebunnya: Sebunya Hamzah yazaalibwa January 24, 1990.

Yasomera Kawempe Muslim gye yamalira S6 mu 2009

Yasomera Jinja Mediacal Labaratory School, yafuna dipulooma mu Medical Labaratory Techinology

Labaratory Technician

Mu kibiina kino yeewandiisa December 2013 era nnamba ye eri 19178

Ebibiina ebigatta abasawo mu ggwanga kuliko Uganda Medical and Dental Pranctitioners kino kigatta Badokita, waliwo Uganda Nurses and Midwifery Association.

Newankubadde Ssentongo yeekubidde enduulu ng’agamba nti Sebunya yali musawo wa Rema, wiiki ewedde Bukedde yakitegedde nti Sebunya okusooka okulaba Rema yali agenze kuyimba ku mukolo ku UMA e Lugogo eyo gye yamusabira beekubye ebifaananyi ng’omuwagizi we n’oluvannyuma n’afuna ennamba y’essimu n’amusindikira ebifaananyi bye beekubya.

Olwamaliriza okuweereza ebifaananyi n’atandika okuweerezaako mesegi nga Rema tayanukula kyokka ng’ali mu bizibu ne Kenzo nga bwe yebuuza ku mikwanogye ne gimuwabula anyweze Sebunnya kubanga ye musajja ow’ekirootokye gwabadde anoonya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...