TOP

Rema amalirizza okugula eby’omukolo

By Martin Ndijjo

Added 15th September 2019

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo gwe ogw’okwanjula bba Hamzah Ssebunya.

Rermanamakula 703x422

Rema Namakula

Rema yakomyewo ku Lwomukaaga era agamba buli kimu kye yeetaaga yakifunye omuli gomesi ez’omulembe okuli amajolobera ga zzaabu z’agenda okwambala ku mukolo (agenda kukyusa emirundi egiwerako), eby’okwewunda omuli ne kalifuuwa, engatto, ebikomo n’ebirala.

Mu mbeera eyenjawulo Hamzah yamukoledde akabaga ak’enjawulo akamwaniriza era nga kano kaabadde mu maka gaabwe e Namugongo Hajji Issa Musoke ssentebe w’olukiiko oluteekateeka okwanjula kwa Rema yategeezezza nti Rema kakomyewo bagenda kuddamu okutuula okuttaanya ensonga z’omukolo ezikyasigalidde.

Musoke agamba mu bimu ku bintu bye baagala okumaliriza kati lwe lukalala lw’abagenyi abayitiddwa ku mukolo.

Wadde olukalala luno lwakolebwa ne luggwa n’abasinga baamaze dda okufuna kaadi ezibayita, bali mu kattu olw’abantu abangi ababakubira essimu nga baagala okujja ku mukolo.

“Rema muntu wa bantu alina emikwano mingi mu biti ebyenjawulo. Olw’okuba ye muntu owenkomeredde asalawo ani alina okujja ku mukolo gwe tubadde tulina okumulinda addemu okutunula ku lukalala luno n’okulaba b’ani abalala bayinza okwongerwako bwe kinaaba kisobose.” Musoke bwe yannyonnyodde.

Musoke agamba abantu 500 be basuubirwa okubeera ku mukolo gwa Rema ogutegekeddwa nga November 14, 2019 e Nabbingo ku lw’e Masaka.

Abantu 300 ku bano bagenyi ba Rema, 150 ba Hamzah ate 50 bakozi ba mirimu egyenjawulo.

Sarah Nabatanzi ssenga wa Rema gye buvuddeko yategeezezza nti olw’obungi bw’abantu abasuubirwa okujja ku mukolo guno bakyalowooza ku ky’okusalawo oba gusigala e Nabbingo oba bafuna awalala awasingako obugazi si nakindi okugenda e Masaka gye bazaala Rema.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.