TOP

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi ow'e Dubai

By Musasi wa Bukedde

Added 15th September 2019

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu abeer e Dubai agambibwqa okuba mukano gwa Edgar Gateni bba wa Ngirinya.

Pala 703x422

Edgar Gateni (ku ddyo) ng'ali ne mwanyina mu kusabira Maria Nagirinya, mu Klezia ya St. Peter's Parish - Nsambya.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti bambega baafunye amawulire nti, Gateni alina omukyala mukwano gwe mu ngeri ey’enjawulo e Dubai era balabibwa emirundi mingi nga bapepeya naye mu bifo eby’enjawulo.

Okusalawo okunoonyereza ku mukyala ono, poliisi ekyagoba layini y’abatemu abatta Nagirinya abagitegeeza nti waliwo omugagga eyabatuma okumuggyirawo Nagirinya, olw’ensonga ze, ze yeemanyidde.

Ekiseera bwe kyayitawo, Gateni yatandika okumala obudde obuwanvu nga takomyewo waka ekyatandika okweraliikiriza Nagirinya era kigambibwa nti ono yatandika okufuna ehhambo okuva e Dubai nti waliwo omukazi gwe batategeera gwe bamulaba naye.

Oluvannyuma lw’okuwulira bino, Nagirinya yasaba bba akomewoko mu Uganda batuule mu nsonga zino kyokka bba yagaana okusaba kuno n’atadda mu Uganda.

Nagirinya yasalawo ne yeegulira ttikiti n’agenda e Dubai okusisinkaa bba boogere. Bwe yatuuka e Dubai, abamu ku bantu be yasangayo baamuwa olugambo nti bba yali afunyeeyo gw’apepeya naye era n’atandika okuggwaamu amaanyi.

Olw’okutya nti bba baali bayinza okumwefunziza ddala, waayitawo akaseera katono Nagirinya, mu February, w’omwaka guno, n’addayo e Dubai, omulundi omulala okulaba ku bba nga bw’ali n’okumulaga obutali bumativu bwe ku bigambo bye yali awulira.

Kati poliisi ky'eyagala, kwe kuzuula enkolagana y’omukazi ono ayogerwako ne Gateni w'ekoma, naddala okukakasa oba waliwo enkolagana ey’omukwano wakati waabwe bombi Gateni n’omukazi ekiyinza okuba nti, kyavaako omukazi okufuna ekirowoozo okuggyawo Nagirinya yeddize omusajja nga tewali amukuba ku mukono.

Mu biseera by’okukungubagira Nagirinya, Gateni bwe yatuukirirwa okubaako kyayogera ku mukazi we, yategeeza nti baali basisinkanyeeko naye mu February w’omwaka guno.

Gateni yagattako nti era ajjukira nti, waayitawo akaseera katono mukazi we n'addayo e Dubai n'amulabako era olwo yamalayo wiiki bbiri ng’ateebereza nti yakomawo mu Uganda n’olubuto era abadde yeesunga kufuna mwana waabwe asooka.

Wabula Francis Anthony Lubowa taata w’omugenzi, ebya muwala we okubeera olubuto yabisambazze ng’agamba nti tebiriiko mutwe na magulu.

Kyokka poliisi ekakasa nti Nagirinya yalina olubuto nga bagenda kukebera oba ddala lwali lwa bba.

Poliisi era enoonyereza ku nkolagana eyaliwo wakati wa Nagirinya ne Kitayimbwa eyali amuvuga nga kigambibwa nti, waliwo obubonero obwali bulaga nti, bano bombi baalina enkolagana ey’enjawulo esukka ku omu okuvuga obuvuzi munne.

MAAMA W’OMULENZI AGAANA OKWETABA KU MBAGA YA NAGIRINYA

Mu kiseera ky’ekimu, bambega era batunuulidde embeera etali yaabulijjo eyaliwo wakati wa famire ya Nagirinya ne Gateni, ekyaviirako maama wa Gateni, okutuuka okugaana okwetaba ku mbaga ya mutabani we.

Ensonda mu famire ya Nagirinya, zaategeezezza nti baawulirako nti maama w’omulenzi yali yeemulugunya ku mutabani we okumusuulirira nga ne bw'ajja mu Uganda, tagenda kumulabako kubaako ky'amuwa, olwo naye kwe kwekyawa era ku lunaku lw’embaga n’agaana okulinnyayo ekigere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...