TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya mu Amerika

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya mu Amerika

By Musasi wa Bukedde

Added 15th September 2019

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga eryo n’eragira ebyobugagga bye ebiri mu Amerika bikwatibwe.

Title 703x422

Ekiragiro ekyokuwera Kayihura okugenda mu Amerika n’ebyobugagga bye okukwatibwa kyayisiddwa ekitongole ekiyitwa ‘Offi ce of Foreign Assets Control (OFAC), ekyaweereza obubaka eri ebitongole byonna ebya Amerika omuli n’ekitebe kya Amerika mu Uganda okussa mu nkola ekiragiro ekyo.

Amerika egenze okussa akazito ku Kayihura nga kyenkana amaanyi gaamuggwa dda.

Yaggalirwako emyezi kumpi esatu nga mu kiseera kino awerennemba n’emisango emikakali gye yaggulwako mu kkooti y’amagye ate nga n’embeera ey’obulamu bwe teyeeyagaza nga kigambibwa nti mukosefukosefu.

Omuwandiisi w’eggwanika ly’ensimbi mu kitongole ky’Amerika ekirwanyisa obutujju n’okulondoola ensimbi ekiyitibwa Department of Treasury for Terrorism and Financial Intelligence Sigal Mandelker, yagambye nti ekiragiro ekyayisiddwa kitegeeza nti ebyobugagga bya Kayihura byonna by’alina mu Amerika, oba ebyo by’alinako akakwate konna, nabyo byakuboyebwa.

Mandelker yagambye nti ebyo baabisazeewo oluvannyuma lw’okunoonyereza ne bazuula ebikolwa bya Gen. Kayihura eby’okutulugunya n’okutyoboola eddembe ly’omuntu mu kiseera bwe yali IPG.

“Gavumenti ya Amerika, emaliridde okufutiza abo bonna abeenyigira mu bikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu, obukenuzi, n’obulyake eri abantu sekinnoomu, n’amawanga okwetoloola ensi yonna,” ekiwandiiko bwe kyongera okulambika.

Amerika, era erumiriza Gen. Kayihura, n’ebitongole bye ebirala okuli ekya Flying Squad Unit (FSU), wamu ne Nalufeenya Special Investigations Centre (NSIC), okutulugunya abasibe nga babakuba ebigala by’emmundu n’emiggo, n’okuwa abamu ssente okusobola okulumiriza bannaabwe abatalina kye bamanyi ku misango Kayihura egya nnaggomola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...