TOP

Batankanye enfa ya Bannayuganda mu Buwalabu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th September 2019

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi ira mu ngeri etategeerekeka olw’ebikgambibwa nti gyaleeteddwa nga tegiriimu bitundu eby’omubiri ebyobunda.

Walk 703x422

Abooluganda lwa Mutoni nga beetegereza kkeesi omuli omulambo ku ggwaanika e Mulago.

Egimu ku mirambo gyabaagiddwa abasawo okwabadde n’abekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku by’obulamu ne kizuulibwa nga baagenze okugireeta egimu ng’emitwe n’embuto byabaagibwa ne bigyibwamu ebitundu ebyenjawulo.

Bino biddiridde ab’enganda z’abagenzi okwemulugunya ku nfa y’abantu baabwe nga bagamba nti kirabika baabasoose kubaggyamu nsigo oluvannyuma ne babasuula mu kidiba mwe bawugira okubuzaabuza abanoonyereza.

Omwogezi w’ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango Charles Atwine, yategeezezza nti okunoonyereza kwabwe tekugenda kukoma ku kya nsigo kyokka, wabula bagenda kukugaziya batunuulire n’ebitundu by’omubiri ebirala okuli n’omutima.

“Okunoonyereza kwaffe kugenda kuba kugazi nga si kunoonya ku bya nsigo zokka,” Atwine, bwe yategeezezza.

Enfa y’abantu bano etankanibwa yaviiriddeko ab’ekitongole kya Pulezidenti ekirwanyisa obulyake ekya State House Anti- Corruption Unit, ekikulirwa Lt. Col. Edith Nakalema, okuyingira mu nsonga zino n’ekigendererwa eky’okuyamba famire zaabwe okufuna obwenkanya.

Dr. Moses Byaruhanga, akuliddemu okwekebejja emirambo gino yategeezezza, nti alipoota eyawamu eraga engeri abagenzi gye baafaamu n’embeera emirambo gyabwe mwe gyabadde, basuubirwa okugifulumya mu bbanga lya mwezi nga gumu.

Waliwo omulambo gw’omuwala Sylvia Mutoni 24 ogwaleeteddwa ku Lwokutaano kyokka nga entuuka gye gwatuuse ku kisaawe e Ntebe yeewunyisa ab’enganda ze n’abebyokwerinda kubanga gwabadde tegusuubirwa.

Kigambibwa nti yatwalibwa kkampuni ya Rema Africano Company Limited era ng’omulambo gwe okusinziira ku Atwine aboluganda baategedde kiro nti gugenda kuleetebwa era akulira kkampuni eno yakwatiddwa n’aggalirwa okubuulira poliisi ku nfa ya Mutoni.

Mu Saudi Arabia, Mutoni gy’abadde akolera kigambibwa nti yasangibwa ku luguudo ng’atabuse omutwe n’alondebwa omu ku bazirakisa eyamutwala kyokka tekimanyiddwa ngeri ki gye yatuuka mu ddwaaliro okutuuka okulongoosebwa nga poliisi bino by’enoonyerezaako.

Omulambo gwa Mutoni gwasangiddwa nga gulongooseddwa omutwe, okugulu okumu nga kuzimbye nnyo ate ng’okugulu okulala kulimu ebyuma nga kyategeerekese nti ono yalongoosebwa.

Kyokka abooluganda lwa Mutoni beebuuza engeri Mutoni gye yatuuka okulongoosebwa nga tewali waluganda lwe n’omuntu eyassa omukono ku mpapula z’okumulongoosa nga bwe kikolebwa mu mawanga gonna ng’omuntu agenda okulongoosebwa. Mutonyi, kigambibwa yafa nga May 18, 2019.

Omuwala omulala Nagawa, kyazuuliddwa nti waliwo abantu abaali baamukukusa okumutwala mu Saudi Arabia, kyokka oluvannyuma naafa mu June, 2019, era omulambo gwe gwaleeteddwa mu nnyonyi ya kkampuni ya Fly Emirates.

ABAASOOSE OKUKOMEZEBWAWO BAKWASIDDWA ABA FAMIRE

Emirambo egyakwasiddwa abenganda kuliko ogwa John Torres Mujuzi 27 n’ogwa Charles Bekalaze 26 nga gino gyakomezebwawo ku Lwokuna okuva e Kuwait gye bafi ira nga kigambibwa nti baali bagenze kuwuga ne bafi ira mu mazzi.

Aba famire z’abagenzi olwabadde okutuuka ku ggwanika ne basalawo okulondako buli famire omuntu omu ne babayingiza munda mu ggwanika wamu n’omu ku baserikale abaabadde bakiikiridde State house olwo omulimu gw’okwekebejja emirambo gy’abagenzi ne gutandika.

Kino kyakoleddwa okusobola okukakasa oba waliwo ebitundu by’abagenzi ebyaggyibwamu nga bwe kyasoose okusaasaanyizibwa ku timbagano gya yintaneti.

Oluvannyuma lw’okwekebejja emirambo gyombi, abooluganda bano baakomyewo mu benganda zaabwe ne babalambululira ekyakoleddwa nga bagezaako okwekebejja emirambo gino.

Omulimu gw’okwekebejja emirambo gyombi gwakoleddwa Dr. Moses Byaruhanga era yategeezezza nga bwe beekebezze emirambo gy’abagenzi ne bazuula nga byonna ebitundu byabwe bwe byasangiddwaamu.

Yayongeddeko nti abagenzi ekyabasse tekyasobose kuzuulwa olw’embeera y’emirambo kubanga gyabadde gitandise okuvunda wabula n’asuubiza okuwa alipoota ye oluvannyuma lw’ebbanga lya myezi esatu.

OMULAMBO OMULALA GUKYALEMEDDEYO

Sarah Achieng 27, yafi ira mu Kuwait nga yagenda mu September 2018 n’afa mu June wa 2019 era abooluganda bakyalemeddwa okukomyawo omulambo gwe.

Jackson Egesa mwannyina wa Achieng yategeezezza nti muganda waabwe yagenda ebweru ng’atwalibwa omukazi Halima Byekwaso gwebamanyi obulungi era nga bava ku kyalo kimu e Bugiri, Luwooko.

Agamba nti Byekwaso yajja ku kyalo ng’akung’anya abawala okugenda okukola era ne Achieng mwe yagendera.

Ayongerako nti baafuna essimu okuva mu bawala mu Buwarabu abaali baakuba nga bagamba nti Achieng afudde era ng’abawala bano kirabika baali mu kutya.

Halima Byekwaso 33, ng’oluusi yeeyita Anne Annet Mutesi nga y’agambibwa otwala Achineg e Kuwait yasimbiddwa mu maaso g’Omulamuzi Ketty Joan Acaa owa kkooti ya Buganda road n’avunaanibwa emisango ebiri okuli okukumpanya ssaako okutwala abantu ebweru w’eggwanga nga talina lukusa.

Ono ng’akola nga ajenti mu kkampuni ya VBC Labour Export eyaweebwa layisinsi okutwala abantu ebweru kigambibwa nti yasaba Irene Nankumba ssente emitwalo egisoba mu 70 ng’amusuubizza okumutwala ebweru. Guddamu September 27.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...