TOP

Supreme Mufti avumiridde 'safe houses'

By Dickson Kulumba

Added 15th September 2019

SUPREME Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa avumiridde ebifo ebitali mu mateeka omusibirwa abantu by’ayogeddeko ng’ebiwa ekifaananyi ekibi nti mu Uganda mulimu okutulugunya abantu, n’awa amagezi nti abantu abateeberezebwa okuzza emisango baggalirwe mu makomera amatongole.

Kolayo1 703x422

Supreme Mufti Ndirangwa ng’ayogerera ku mukolo omwami w’omuluka gw’e Nakasero IV, Hajji Ndugga(amuliraanye). Owookubiri okuva ku kkono ye mwami atwala eggombolola ya Kampala Masekkati, Henry Kawuma Male. Asooka ku kkono ye Stephen Muyunga amyuka Sipiika w’olukiiko. Abakulembeze b’e Kira nga basala keeki eyabatoneddwa aba Kamuli Zooni C. Wakati ye meeya Mutebi , ng’addiriddwa Sipiika Ssemukuye, n’abalala. Ben Kasolo ow’ebyobuwangwa mu kika ky’Effumbe, ye yakiikiridde omukulu w’ekika, Omutaka Yusufu Mbirozankya Kigumba Makubuya I, ku mukolo guno n’asaba abatwala ekibuga Kampala

Bino yabyogeredde mu katale e Nakasero ku mukolo okwatuliziddwa Hajji Mohammad Ndugga Walusimbi eyalondeddwa ku bwami bw’omuluka gwa Nakasero IV mu ggombolola ya Kampala Masekkati mu ssaza ly’e Kyaddondo.

“Tulwanyise effugabbi. Kye nsuubirwa ku ludda olwo, abantu bwe babeera nga balina kye basobezza nga Bannayuganda kubanga teri awagira bikolwa bikyamu,batwalibwe mu mbuga z’amateeka balamulwe naye ebiyumbayumba ebifaanana bwe bityo mwe batugumbulira abantu, kifaananyi kibi mu Uganda n’ebweru waayo.

Ka nsabe Katonda ayongere emirembe n’obutebenkevu mu Uganda,” Sheikh Ndirangwa bwe yagambye.

Shiekh Ndirangwa yazzeeko kuvumirira ettemu erisusse mu ggwanga, n’asaba bannaddiini banne okutandika okuwaayo essaala ez’enjawulo, Katonda asobole okutaasa eggwanga lino era n’akubiriza abasuubuzi okwetegekera okukozesa enkola ya ‘Islamic banking’.

Akola nga omwami w’essaza ly’e Kyadondo, Kaggo Agnes Nakibirige Sempa yeebazizza aboomuluka guno okukola emirimu obulungi egifudde essaza ly’e Kyaddondo okuvuganya n’amaanyi mu mpaka z’ebikolebwa mu gavumenti ez’ebitundu, mu Bwakabaka n’ebitundu ebirala.

Ku mukolo gwe gumu kw’atongolezeddwaako enteekateeka y’okukuhhaanya oluwalo nga kino kyakoleddwa Omwami w’eggombolola eno, Henry Kawuma Male era n’asaba olukiiko lw’omuluka olwatongozeddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa, bakubirize abantu okwenyigira mu mirimu gy’Obwakabaka era bayonje akatale k’e Nakasero katuukane n’omutindo.

Hajji Ndugga eyatuuziddwa n’olukiiko lwe, beeyamye okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweereddwa nga bafuula Nakasero omuluka ogusinga okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.

Omumbejja Mariam Nassuuna, Maxensia Nakijoba ne Christine Sserunjogi be bamyuka ba Hajji Ndugga.

Supreme Mufti avumiridde ettemu Supreme Mufti Ndirangwa ng’ayogerera ku mukolo omwami w’omuluka gw’e Nakasero IV, Hajji Ndugga(amuliraanye).

Owookubiri okuva ku kkono ye mwami atwala eggombolola ya Kampala Masekkati, Henry Kawuma Male. Asooka ku kkono ye Stephen Muyunga amyuka Sipiika w’olukiiko.

Abakulembeze b’e Kira nga basala keeki eyabatoneddwa aba Kamuli Zooni C. Wakati ye meeya Mutebi , ng’addiriddwa Sipiika Ssemukuye, n’abalala.

Ben Kasolo ow’ebyobuwangwa mu kika ky’Effumbe, ye yakiikiridde omukulu w’ekika, Omutaka Yusufu Mbirozankya Kigumba Makubuya I, ku mukolo guno n’asaba abatwala ekibuga Kampala okutuuma enguudo zaakyo amannya agakiikirira bannansangwa b’ekitundu kino okusinga okusigala nga zikyatuumiddwa amannya g’Abazungu abafuzi b’amatwale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...