TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Omwana ayagala okutwala ebyange si nze mmuzaala ne nnyina akimanyi’

‘Omwana ayagala okutwala ebyange si nze mmuzaala ne nnyina akimanyi’

By Musasi wa Bukedde

Added 15th September 2019

JORDAN Ssebuliba Kiwanuka 40, atabuse lwa byabugagga bya kitaawe Mohan Kiwanuka Musisi 69, n’atuuka n’okukimuteekako nti, aliko ekikyamu ku mutwe nga takyasobola kubiddukanya, nga ky’ayagala kwe kwekomya obugagga bwa kitaawe.

Kiwa 703x422

Mohan Kiwanuka ne mukyala we Maria Kiwanuka mu maka gaabwe e Kololo. Wansi mu katono ye, Jordan Ssebuliba Kiwanuka kitaawe gw’agamba okwagala okweddiza ebyobugagga bwe.

Ssebuliba era yatutte ekiwandiiko mu Kkooti enkulu n’agisaba emuwe olukusa obuddukanya ebyobugagga bya Kiwanuka byonna ng’agamba nti, takyasobola kubiddukanya bulungi olw’obuzibu bw’alina ku mutwe.

Kyokka Kiwanuka agamba nti, wadde Ssebuliba akulidde mu mikono gye naye si y’amuzaala.

Yayongeddeko nti, Ssebuliba by’akola biraga nti, asobola okumutta oba okumutuusaako obulabe kubanga ayagala byabugagga kitaawe ono by’akoleredde n’okubikuuma okumala emyaka.

Kiwanuka Musisi ye bba w’eyaliko minisita w’ebyensimbi, Maria Kiwanuka. Mutuuze mu Prince Charles Drive e Kololo poloti 15.

Musajja mugagga ng’alina kkampani eziwera 33 omuli n’amakolero mw’addukkanyiza emirimu gye egy’enjawulo.

Mutuuze w’e Kololo gy’alina 12 Bukedde Ssande September 15, 2019 FAMIRE amaka era musajja mukkakkamu akuumye erinnya.

EMISANGO MU KKOOTI

“Ssebuliba si mwana wange - Kiwanuka”

Kiwanuka agamba nti, “Si nze taata wa Ssebuliba amuzaalira ddala era nnyina Beatrice Luyiga akimanyi bulungi nti kitaawe mulala.

Obuzaale bwa Ssebuliba mbaddenga mbubuusabuusa okuva lwe yazaalibwa. Nnyina Luyiga yaliko muganzi wange nga muwandiisi mu ofiisi emu gye nali nkolamu e Ntebe. Yazaala Ssebuliba mu musajja mulala.

Nange yaliko muganzi wange nga namuzaalamu abaana bana. Nasalawo obutagoba Ssebuliba era akulidde mu mikono gyange ng’oyinza okulowoza nze kitaawe amuzaalira ddala.

Mbadde simusosola nga mmutwalira ddala ng’omwana w’omuntumbwe zange.

Mmusomesezza mu masomero agakyasinga okubeera amalungi mu ggwanga ng’asomedde wamu n’abaana bange, oluvannyuma nabatwala ebweru w’eggwanga.

Ssebuliba namutwala UK gye yasomedde n’afuuka looya. Ng’amalirizza emisomo yakomawo mu ggwanga mu 2003.

Ng’enkola yange bw’ebeera, buli mwana eyadda namukwasa emmotoka emuyambeko mu by’entambula.

Ne Ssebuliba namuwa eyiye mw’atambulira ng’agenda ku mulimu Saakoma kw’ekyo, namukwasa mukwano gwange looya nga y’omu ku basinga okukola obulungi mu ggwanga ayongere okumutendeka akuguke.

Wabula Ssebuliba yanswaza bwe yatuukayo yatandika okukyusa bakasitoma abajja mu ofiisi ng’abeeteekako n’abafuula ababe nti, y’abakolako ku buzibu bwabwe ku ssente entonotono ekyamuviirako okulemwa.

kifo kya even rees e ololo ordan sebuliba kyabadde addukanyaEkifo kya Seven Trees e Kololo, Jordan Ssebuliba ky’abadde addukanya

SSEBULIBA OKUMUSIIMUULA KU BIWANDIIKO KYE KYAMUTABULA

Ssebuliba nali mmutaddeko nga ye muwandiisi era nga y’omu ku bavunaanyizibwa ku kuddukanya ebyobugagga byange.

Kyokka nasalawo okumuggyako obuvunaanyizibwa kubanga kinkakatako nga dayirekita ne nteekako kkampuni ya Buwule and Mayiga Co. Advocates be nakwasa obuvunaanyizibwa.

Nassaako ne mukyala wange Maria Nabasirye Kiwanuka nga ye dayirekita.

Kino kirabika bye bimu ku byamutabula n’atandika n’okwogerera mukyala wange Maria Kiwanuka amafuukuule ng’agamba nti, y’atandise okukola enkyukakyuka zino.

Era wano w’asinziira okugamba nti, nnina ekikyamu ku mutwe nneetaaga kutwalibwa Butabika.

Wabula okukyusakyusa abavunaanyizibwa ku byobugagga byange nkyesalirawo nga nakikola mu kweyagalira.

Olaba Ssebuliba yatuuka n’okuwawaabira kkampuni zange nga bwe zibbirira omusolo era byonna babinoonyerezaako ne kizuulibwa ng’abadde atukonjera.

Ssebuliba mmuwadde ekitangaala mu bulamu bwe naye mu byobugagga byange si dayirekita oba talinaamu migabo.

Era obuvunaanyizibwa bwe nali mmuwadde nga ye muwandiisi wa kkampuni nabumuggyako.

Wabula wadde ampise aliko obuzibu ku mutwe sijja kumutwala mu kkooti nti mmuwawaabira okwonoona erinnya lyange.

KIWANUKA AGOBA SSEBULIBA OKULINNYA MU MAKA GE

Ssebuliba mbadde simusosola nga mbadde mmutwala nga mwana wange. Naye kyampitiriddeko okulaba ng’antwala mu kkooti. Omuntu akola ekintu nga kino asobola bulungi okukukola ekikyamu.

Mpulira omutima gwange gumwekengera nga mu kiseera kino mmutya. Agende abeere eyo ne baganda be era sikyasobola kubakkiriza kuyingira mu maka gange. Wano nninawo abantu bange bangi ne mukyala wange.

Wadde Ssebuliba agamba nti, emyezi mukaaga nga namugoba awaka wange naye giri myezi ebiri bukya ensonga zino zibalukawo, nga nakikola kubanga mmwekengera.

Wabula sejjusa kumukuza kubanga abantu bangi bayambibwa naye babeera n’embeera za njawulo.

 maka ga iwanuka age ololo Amaka ga Kiwanuka ag’e Kololo.

 

SSEBULIBA AFUNA ERINNYA LY’EKKOBE

Erinnya lya Ssebuliba lino, muganda wange Abbot Ssebuliba ye yalimutuuma ng’amubbulamu erinnya lye wabula ng’amaze kufuna lukusa okuva ewange.

Nnyina Luyiga akimanyi bulungi, era kino Kiwanuka yakijulizza mwannyina Bert nti naye akimanyiiko.

Wabula erinnya lya Kiwanuka, omuvubuka Jordan ye yasalawo n’alyetuuma ku lulwe era ne limukalako. Mu mbeera yaffe ey’ekiddugavu tetugobaganya baana.

OKUTABUKA KUTANDIKA

Obutakkaanya buva ku Ssebuliba kuwamba byabugagga byange ng’ayagala kubyekomya nga nkyali mulamu.

1 Yeeremeza ku ttaka lyange eriri ku poloti 21-29 ku Golf course kwe yateeka ekifo awakolerwa emikolo kw’amaze emyaka 10.

2 Endala poloti 10 eri ku Akii Bua Avenue e Nakasero.

3 Ettaka lyange eddala lye yeezingako liri Ssonde kumpi ne Namugongo nga liweza yiika 200 nga Ssebuliba ayagala kulyekomya nga yalikwasa dda kkampuni okulitunda.

4 Ettaka lyange eddala lya Bwerenga Estates.

5 Ekifo ekitegekerwamu emikolo ekya Seven Trees kinene gaggadde nga Ssebuliba akitegekeramu emikolo omuli embaga ng’omwaka abadde akifunamu obukadde 600 kyokka nga zonna azeekomya nga tewali wadde ennusu egenda mu kkampuni.

Ekiseera kyatuuka kkampuni ekivunaanyizibwako eya Visa Investment Ltd ne baagala okukiddukanya kyokka Ssebuliba n’akigaaniramu.

Ekiseera kyonna abaddenga agamba nti, ekifo nakimuwa kyokka nga bw’omusaba obukakafu obulaga nga tayinza kubukuwa.

Yasalawo okuteekako envumbo n’antangira okukikoleramu ebyange wabula oluvannyuma kkooti yagiggyako.

Okumanya Ssebuliba abadde yanswaza mu bakungu omwali eyaliko Ssaabalamuzi Wako Wambuzi eyansaba ekifo okutegekeramu omukolo era ne tukkaanya ne Ssebuliba obutaleetawo mukolo mulala.

Namala ekiseera nga mmujjukiza ku mukolo guno nga saagala ategekerewo mukolo mulala kutabangula bantu bange.

Kyokka kyampitirirako omukolo gw’abakungu okwali n’ababaka b’amawanga bwe gwali gugenda mu maaso, embeekuulo y’abagole n’eyingirawo nga bakuba ebivuga n’okuwogganira waggulu.

Kyokka Ssebuliba yaddukawo n’agenda mu kifo ekirala. Ekirala buli kiseera mbaddenga mu kuwoza misango nga KCCA n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’obutonde bw’ensi nga bannenya olw’amaloboozi agabuutikira ekitundu kyokka nga kyetooloddwa abantu ab’obuvunaanyizibwa omuli abakungu n’ababaka b’amawanga abasulawo.

 iwanuka ku kkono ne looya we awule Kiwanuka (ku kkono) ne looya we, Kawule.

AMPAABIDDE EMISANGO EGIWERA

Ssebuliba ampaabidde emisango egiwerako mu kkooti kyokka abeera tannaba kugiggusa ate n’abakira emirala.

Azze akola effujjo ng’ateeka envumbo ku byobugagga byange. Era lumu yasalawo ebyobugagga byonna babiteekeko envumbo kyokka kkooti ne bakizuula nga by’akola bikyamu ne bagiggyako.

Omusango ogumu guli kufayiro no. 535 /2019 ng’annanga bwe mmugoba mu kifo w’akolera emikolo.

Agamba nti, bwe mba njagala okumusengula mu kifo w’ateeka emikolo, nnina okumuliyirira akawumbi kubanga yasimbawo ebimuli era mbeera mmufi iriza.

NNINA OMUKYALA OMU

Kiwanuka yagambye nti, nnina omukyala omu era namuwasa ne tusiba empeta mu Amerika.

Abalala bwe baba gyebali beetuuma bwetuumi. Era tubadde naye okumala emyaka gyonna 33 nga tetulina buzibu era abaana bonna abamanyi.

MARIA KIWANUKA KY’AGAMBA

Kyannaku nti, twawukanye mu bukulu kyokka tubadde wamu n’abaana bano okumala emyaka 33 gye nnaakamala mu bufumbo bwange.

Abaana bano mbadde sibalinaako buzibu bwonna kubanga baana ba baze nga nnina okubaaniriza.

Era Ssebuliba abadde mufumbo kyokka ng’asitula famire ye n’agireeta ewange ne basiibawo ne balya okunywa n’okunyumirwa embeera nga tewali buzibu bwonna.

Olumu abadde aleeta abaana be ne basiiba awaka nga bazannya n’okuwuga n’abanona w’ayagalidde. Kati bino byonna binnuma okubeera nga tetukyakwatagana.

LOOYA WA KIWANUKA KY’AGAMBA

alt=''

 

Francis Buwule owa Buwule and Mayiga Co. Advocates agamba nti, kyannaku abantu okwagala okusikira bannaabwe nga bakyali ku nsi.

Yagambye nti, Ssebuliba wadde azze awaaba emisango kyokka ekituufu kizuuliddwa.

Wabula emisango egisooka abadde awaaba yekka, kyokka bwe baamugamba agende mu kkooti y’ebyamaka yatuukayo ne bamukunyizaayo nga bamugamba bw’atali muka Kiwanuka kubanga ye mwana atalina kuwaabira kitaawe nga bw’atalabirira nnyina.

Yaddayo n’afumba obwongo n’akola okuwaaba okulala nga kuliko maama we Luyiga ne bato be bonna kye ndaba nga yabakolera ttima okubateeka mu misango gye.

Agamba nti, omusajja bw’akuzaalamu omwana tekikufuula mukazi we. Wabula muyinza okubeera n’abaana omusajja n’abalabirira.

JORDAN SSEBULIBA KY’AGAMBA

Bw’aba taata bw’asazeewo nga bw’ayogedde nti si y’anzaala sirina bingi bya kwogera.

Taata abeera taata kati ebyange bitono ddala. Bwe kiba nga bwe kityo bwe kiri nange saaliyo nga bantonda.

Nnina ensonga lwaki nagenda mu kkooti naye nga si bintu bye byantwalayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.

Buku1 220x290

Magogo azzeeyo ku butaka gy'azaalibwa...

FIFA olwamaze okumukaliga emyezi ebiri nga teyeenyigira mu mupiira, Moses Magogo, abadde pulezindeti wa FUFA, yasibidde...

Goat46 220x290

Abantu basalawo batya okwambulira...

NAYE nga ddala lwaki Bannayuganda balemwa okwambalira emikolo gy’abantu ne basalawo okwambalira embuzi obubuzi...

Kol0 220x290

Katikkiro akubirizza Bannamawokota...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti ebyenjigiriza ensangi zino byetaaga okutumbula ebitone by'abaana, okubateekamu...